Olukuŋŋaana lwa District Olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu” mu 2002
1 “Nnasanyuka bwe baŋŋamba nti Tugende mu nnyumba ya Mukama.” (Zab. 122:1) Nga weekenneenya ebigambo ebyo eby’omuwandiisi wa Zabbuli, weetegereze bino (1) engeri gye yawulira ng’ayitiddwa okusinza Yakuwa, (2) emikwano emirungi gye yalina, era n’abo abaali baagala okusinza okw’amazima, ne (3) enteekateeka eyalina okukolebwa okuyita abantu, okukuŋŋaana awamu n’okutindigga olugendo okugenda mu nnyumba ya Katonda.
2 Tetuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe tutegeera nti enteekateeka z’olukuŋŋaana olulala olunene zikolebwa? Tuba twesunga nnyo nnaddala bwe tujjukira essanyu lye twalina mu nkuŋŋaana ez’emabega ate era n’essuubi ery’okuddamu okubeera awamu ne banaffe abaagala Yakuwa. Enteekateeka zikoleddwa okusobola okufuna Olukuŋŋaana lwa District olw’ennaku ssatu mu 2002 olwa “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu.” Kati kino kye kiseera okukola enteekateeka okusobola okubeerawo n’okuganyulwa mu bujjuvu mu mbaga eyo ey’eby’omwoyo.
3 “Omuwanika omwesigwa ow’amagezi,” atandise okuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo enneetuweebwa mu lukuŋŋaana olunene. (Luk. 12:42) Buli kibiina kijja kutegeezebwa olukuŋŋaana olunene lwe kinaagendamu waleme kubaawo mujjuzo gw’abantu mu kifo kimu. Okwongereza ku ekyo, ab’oluganda bangi bakola enteekateeka mu bitongole ebitali bimu kisobozese “ebintu byonna okugenda obulungi era mu ngeri entegeke obulungi.” (1 Kol. 14:40, NW) Nga buli kimu kimaze okukolebwa olw’okutuganyula, kiki kye twandikoze kinnoomu okusobola okweteekerateekera olukuŋŋaana olwo?
4 Teekateeka Kati Osobole Okubeerawo Ennaku Zonna Essatu: Weetaaga okusaba akukozesa akukkirize okubeerawo mu lukuŋŋaana olunene ennaku zonna? Yakuwa akimanyi nti abakozesa abamu ‘bazibu okusanyusa.’ (1 Peet. 2:18) Naye enkuŋŋaana zaffe nkulu nnyo era twagala okufuba ennyo okusobola okubeerawo mu programu yonna. Tuukirira Yakuwa mu kusaba ku nsonga ezo, omusabe akuwe obulagirizi osobole okutuuka ku buwanguzi.—Nek. 2:4.
5 Teekateeka w’Onoosula nga Bukyali: Ka kibe nti ojja kusula mu bibiina by’amasomero, oba mu bisulo byago, oba mu wooteeri, kino kye kiseera eky’okubalirira ebyetaagisa n’okutandika okubaako ky’oterekawo okusobola okukola ku byetaago byo. (Luk. 14:28) Bw’oba ng’oteekateeka kusula mu wooteeri era ng’oyagala Ekitongole ky’Eby’Ensula kikuyambe, osabibwa okuwandiikira Ekitongole ky’Eby’Ensula eky’olukuŋŋaana lw’onoobeeramu nga bukyali. Oyinza okuwandiika okuyitira ku ofiisi. Oluusi kiyinza okukwetaagisa okusasulako ku ssente.
6 Weetegereze Embeera y’Abo Abali mu Kibiina Kyo: Singa tumanya nti ow’oluganda oba mwannyinaffe alina ekizibu ekiyinza okumulemesa okubeerawo mu lukuŋŋaana olunene, tuyinza ‘okugaziya’ mu kwagala kwaffe ne tumuyamba? (2 Kol. 6:12, 13; Ma. 15:7) Ogwo gwe mwoyo Pawulo gwe yakubiriza mu 2 Abakkolinso 8:14. Lwaki abalinga abo tobayita bakwegatteko ng’ogenda mu lukuŋŋaana olunene? Bwe baba nga bapayoniya, bayinza okuba n’ebyokulabirako bingi bye bayinza okwogerako nga mugenda mu lukuŋŋaana olwo. Bwe baba nga bamaze ebbanga ddene mu kibiina, bayinza okukutegeeza ebyafaayo bingi ebirungi ennyo ebikwata ku mulimu gwa Katonda by’otowulirangako. Tewandiganyuddwa gwe kennyini era n’ab’omu maka go olw’okubeera awamu n’ab’oluganda abo ne bannyinaffe? Bajja kusiima nnyo omwoyo gw’olina ogw’okugaba era ne Yakuwa ajja kukuwa empeera.—Nge. 28:27; Mat. 10:42.
7 Wadde ng’abo abalina obwetaavu obw’enjawulo okusingira ddala balabirirwa ab’eŋŋanda zaabwe Abakristaayo, abakadde n’abalala mu kibiina abamanyi embeera yaabwe, mu ngeri ey’okwagala bayinza okubayamba nga babakolera enteekateeka ezeetaagisa. (1 Tim. 5:4) Foomu ya Sosayate Esabirwako Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo Obwa Aw’Okusula bw’eweerezebwa eri Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina, akakiiko k’ekibiina kasaanidde okwekenneenya ebisaanyizo bya buli omu asaba okujjuza foomu nga tebannaba kuweereza foomu eyo eri Ekitongole Ekikola ku By’Ensula. Foomu ezikiriziddwa zirina okuweerezebwa eri Ekitongole ekikola ku By’Ensula mu lukuŋŋaana olunene.
8 Musabe Okuweereza nga Bannakyewa: Mu kiseera eky’olukuŋŋaana olunene, enkumi n’enkumi z’abannakyewa bakola emirimu egyetaagisa mu bitongole ebitali bimu. Abaaniriza bafaayo ku bagenyi mu kifo awali olukuŋŋaana n’emmotoka we zirina okusimba, era bawa obulagirizi obukwata ku w’okutuula n’okulabirira ebidduka byaffe mu kiseera ky’olukuŋŋaana. Ekitongole Ekikola ku Kulongoosa kirina enkizo ey’okukuuma erinnya lyaffe eddungi mu by’obuyonjo, n’okuleka ekifo ekyo nga kiyonjo n’okusinga bwe tuba tukisanze. Tusobola okuyamba mu kitongole kino oba ebitongole ebirala abyetaaga obuyambi bwaffe? Onneewaayo kyeyagalire okuweereza ‘awamu’ ne baganda bo?—Zef. 3:9.
9 Ddala Abantu Balaba Bye Tukola? Mu kiseera ky’olukuŋŋaana olunene olw’omwaka oguwedde, omusajja eyali alekedde awo okusoma n’Abajulirwa ba Yakuwa emyaka nga 20 emabega, yali akola mu wooteeri. Yategeeza abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa nti yali alowooza ku ky’okuddamu okusoma Baibuli era n’okugenda mu nkuŋŋaana. Lwaki? Olw’engeri ey’okwagala gye yayisibwamu mu nnaku ezo zonna Abajulirwa ba Yakuwa ze baali mu wooteeri.
10 Maneja w’ekisaawe ekimu yayogera bw’ati ku baganda baffe: “Abantu bammwe be basingayo obulungi ku abo bonna abakozesa ekisaawe kyaffe. Abantu bammwe bagumiikiriza nnyo era bawombeefu, era bulijjo baleka ekisaawe kino nga kiyonjo n’okusinga bwe baba bakisanze.” Ekyo nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Kitaffe ow’omu ggulu bw’alaba nga tugoberera okubuulirira kwa Yesu: ‘Ekitangaala kyammwe kyakenga abantu balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke batendereze Kitammwe ali mu ggulu’!—Mat. 5:16, NW.
11 Ka ffenna tubeere n’endowooza ng’eya Kabaka Dawudi eyeesunganga okugenda okusinza Yakuwa mu nnyumba ye. Enkuŋŋaana zaffe eza district zitusobozesa okufuna emmere ey’eby’omwoyo n’omukisa okubeera awamu ne bakkiriza bannaffe. N’olwekyo, tubakubiriza okutandika okukola enteekateeka musobole okubeerawo mu bitundu byonna eby’ennaku essatu eby’Olukuŋŋaana lwa District olwa “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu” omwaka guno!
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Ebiseera bya Programu
Olw’Okutaano n’Olw’Omukaaga
3:30 ez’oku makya - 11:00 ez’olweggulo
Ssande
3:30 ez’oku makya - 10:00 ez’olweggulo