Endabika Ennungi Eweesa Ekitiibwa
1. Nga tweteekerateekera olukuŋŋaana lwa disitulikiti, lwaki twandirowoozezza ku ngeri gye tunaayambalamu ne gye tuneekolako?
1 “Abajulirwa ba Yakuwa bantu balungi nnyo! Abantu bammwe ba kisa, bambala bulungi, ate beeyisa mu ngeri ebaweesa ekitiibwa.” Bw’atyo omwami akulira wooteeri bwe yayogera ku b’oluganda abaali ku lukuŋŋaana olumu olunene omwaka oguwedde. Omukyala akola mu wooteeri yayogera bw’ati ku b’oluganda abaali ku lukuŋŋaana olulala: “Ennyambala y’abantu bammwe esanyusa Katonda.” Yee, Bonna abagenda ku nkuŋŋaana ennene abantu babeetegereza. N’olwekyo twagala twambale mu ‘ngeri egwanira enjiri,’ era kino bulijjo kireetera abatali bajulirwa okutwogerako obulungi era ne kiraga nti tuli baweereza ba Katonda. (Baf. 1:27) Nga tweteekerateekera olukuŋŋaana lwa disitulikiti, kiba kirungi okulowooza nga bukyali ku ngeri gye tunaayambalamu ne gye tuneekolako.
2. Lwaki kiyinza obutaba kyangu okwambala n’okwekolako mu ngeri esaanira?
2 “Amagezi agava waggulu okusooka malongoofu” bwatyo omuyigirizwa Yakobo bwe yawandiika. (Yak. 3:17) Kiyinza obutaba kyangu okwambala mu ngeri esaanira. Ensi ya Setaani engwenyufu esikiriza abantu okukoppa emisono gy’enyambala egitasaana, egisiikuula okwegomba okubi. (1 Yok. 2:15-17) N’olwekyo, bwe tuba tusalawo bye tunaayambala n’engeri gye tuneekolako, twetaaga okugoberera okubuulirira kwa Baibuli okutukubiriza ‘okwewala obutasaamu Katonda kitiibwa n’okulekayo okwegomba kw’ensi mu mirembe egya kaakano.’ (Tito 2:12) Tetwandyagadde nnyambala yaffe kwesisiwaza baganda baffe, ab’omuwooteeri oba abalala abatulaba.—1 Kol. 10:32, 33.
3. Bibuuzo ki ebinaatuyamba okulowooza ku ngeri gye tunaayambalamu?
3 Ebyambalo Ebisaanira: Nga weetegekera olukuŋŋaana olunene, weebuuze: ‘Ennyambala yange yeeyo esaanira, oba esamaaliriza abalala? Eraga nti nfaayo ku nneewulira y’abalala? Bbulawuzi yange eraga olubuto oba amabeere? Engoye zange ziriko siriiti empanvu, zitangaala oba zinkwata nnyo? Ebyambalo byange biyonjo era tebiwunya lusu? Mu kiseera eky’okulya oba eky’okuwummuliramu nga programu ewedde, naayambala mu ngeri endabisa ng’omuweereza oba naayambala mu ngeri etasaanira muntu azze mu lukuŋŋaana ng’atadeko ka baagi? Engoye ze nnaayambala mu biseera eby’okuwummulako zinaandetera okutya okubuulira mbagirawo?’—Bar. 15:2, 3; 1 Tim. 2:9.
4. Abalala bayinza kutuyamba batya ku bikwata ku nnyambala esaana?
4 Amagezi agatuweebwa Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo gayinza okutuganyula. Abakyala bayinza okwebuuza ku baami baabwe oba nga ddala engeri gye bambaddemu esaanira. Abazadde Abakristaayo nabo basobola okuyamba abaana baabwe abavubuse mu nsonga eno. Ate era n’abakazi abakulu bayinza okuyamba “abakazi abato . . . okwegenderezanga, okuba abalongoofu” mu ndabika yaabwe “ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa.” (Tito 2:3-5) Ebitabo byaffe birimu ebifaananyi eby’abantu abambadde mu ngeri esaana.
5. Tuyinza tutya ffenna okutendereza Yakuwa nga tuli ku lukuŋŋaana olunene?
5 Muweese Yakuwa Ekitiibwa: Enkuŋŋaana za disitulikiti zituwa akakisa ffenna okutendereza Yakuwa, so si abo bokka abagenda okwenyigira mu programu. Kya lwatu, enneyisa yaffe n’enjogera yaffe ey’Ekikristaayo nabyo bijja kumuweesa ekitiibwa. Naye abantu kye basooka okulaba ye nnyambala yaffe n’engeri gye twekolako. Ka ffenna tutendereze Yakuwa nga twambala mu ngeri esaanira.—Zab. 148:12, 13.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
Ebiyinza Okutuyamba Okwambala mu Ngeri Eweesa Ekitiibwa
◼ Ekigambo kya Katonda
◼ Okwekebera
◼ Amagezi abalala ge batuwa
◼ Ebifaananyi ebiri mu bitabo eby’Ekikristaayo