LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/05 lup. 5
  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 4/05 lup. 5

Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Apuli 25, 2005. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30, nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Maaki 7 okutuuka nga Apuli 25, 2005. [Weetegereze: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.​—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]

ENGERI ENNUNGI EZ’OKWOGERAMU

1. Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebyo ebiba bituweereddwa okutegeka emboozi, era lwaki ekyo kikulu? [be lup. 234 but. 1-3, n’obusanduuko] Tuyinza okukozesa obulungi ebyo ebiba bituweereddwa bwe tuzimbira emboozi yaffe ku mutwe ogutuweereddwa, ebyawandiikibwa, n’ensonga enkulu. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti tusiima enteekateeka y’omuddu omwesigwa era ow’amagezi ey’okutuliisa mu by’omwoyo. (Mat. 24:45)

2. Mu ebyo ebituweereddwa okuggyamu emboozi, tunaakozesaako byenkana wa? [be lup. 234 kat. 4–lup. 235 kat. 1] Tulina okukozesaako ebyo byokka ebinaatuyamba okuggyayo obulungi ensonga mu kiseera ekiba kituweereddwa. Okusobola okuyigiriza obulungi era n’okuggyayo obulungi ensonga, tetulina kulondamu bintu bingi.

3. Tusobola tutya okukozesa ebibuuzo mu ngeri ekubiriza abalala okubaako kye boogera nga tuli mu buweereza bw’ennimiro? (Bik. 8:30) [be Lup. 236 but. 2-5] Abajulirwa bangi bakubiriza abantu okubaako kye boogera nga babuuza ebibuuzo ebikwata ku nsonga ebali ku birowoozo gamba nga, “Wali weebuuzizzaako . . . ?” oba “Olowooza otya . . . ?” Bwe baweebwa akakisa okwoleka endowooza zaabwe, kijja kubasikiriza okuwuliriza.

4. Tuyinza tutya okukozesa ebibuuzo okuyamba abayizi ba Baibuli okukozesa ‘obusobozi bwabwe obw’okutegeera?’ (Bar. 12:1) [be lup. 238 kat. 1] Bwe tuba tukubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu, tuyinza okukozesa ebibuuzo ebirala okuyamba omuyizi obutasoma busomi eby’okuddamu ebiri mu kitabo kye. Tuyinza okumubuuza: “Kino kikwatagana kitya n’ensonga gye tuva okuyigako? Lwaki ensonga eyo nkulu? Etukwatako etya?” Bwe tubuuza ebibuuzo mu kifo ky’okuwa endowooza zaffe, tuba tuyamba abayizi baffe okukozesa ‘obusobozi bwabwe obw’okutegeera.’

5. Ebibuuzo ebiri mu Abaruumi 8:31, 32 ne mu Isaaya 14:27 biraga ki? [be lup. 239 but. 1-2] Mu bibuuzo byombi abawandiisi ba Baibuli abo baali balaga nti bakakasiza ddala bye baali boogera. Ebibuuzo ebiri mu nnyiriri zino biraga nti ensonga ezoogerwako nkakafu ddala. Tusobola okukozesa ebibuuzo ng’ebyo okuggumiza ebyo bye twogera.

EMBOOZI 1

6. Tuyinza tutya ‘okussaawo Kristo ng’omusingi’ mu mulimu gwaffe ogw’okufuula abayigirizwa? (1 Kol. 3:11) [be lup. 278 but. 1-2] Okusobola ‘okussaawo Kristo ng’omusingi’ tulina okuyamba abantu okukkiririza mu kinunulo kya Yesu okusobola okufuna obulokozi. Abayizi balina okuyigirizibwa okutunuulira Yesu ng’ekyokulabirako kyabwe era n’okugoberera ebyo ebimwogerwako mu Njiri. (1 Peet. 2:21) Tusaanidde okukubiriza abo be tusomesa okwebuuza ebibuuzo nga bino bwe baba baagala okubaako kye basalawo: ‘Kiki Yesu kye yandikoze ng’ali mu mbeera ng’eno? Kye nnaasalawo okukola kinaalaga nti nsiima ebyo by’ankolera?’ (Yok. 14:15, 21)

7. Okuva Yakuwa bwe yawa Omwana we obuyinza obujjuvu obw’okufuga mu 1914, tuba tutegeeza ki bwe tusaba nti, “Obwakabaka bwo bujje”? (Mat. 6:9, 10) [be lup. 279 kat. 4] Bwe tusaba nti, “Obwakabaka bwo bujje,” tuba tutegeeza nti, Obwakabaka bwa Katonda obufuga bujja kutuukiriza obunnabbi ng’obwo obuli mu Danyeri 2:44 n’Okubikkulirwa 21:2-4. Tuweereddwa omulimu ogw’okulangirira emikisa eginaatera okuleetebwa Obwakabaka bwa Katonda obufuga. (Mat. 24:⁠14)

8. Lwaki Abakristaayo bonna bandifuddeyo okusoma obulungi, era Yesu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno? [w03 3/15 lup. 10 kat. 5; lup. 12 kat. 2] Okuva Katonda bw’atuwadde Ekigambo kye mu buwandiike, atusuubira okuyiga okusoma obulungi. Bwe tusoma Ebyawandiikibwa awamu n’Ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli nga tubitegeera bulungi, kijja kutwanguyira okussa mu nkola okubuulirira kwa Katonda era ‘n’okukozesa obulungi ekigambo kye eky’amazima.’ (2 Tim. 2:15) Yesu yali asobola bulungi okusoma, ne bwe yali ng’aweza emyaka 12 gyokka egy’obukulu, yali asobola okukubaganya ebirowoozo n’abasajja abayivu ng’ali mu yeekaalu. (Luk. 2:46, 47)

9. Ekyokulabirako kya Yosiya n’ekya Yesu biyinza bitya okuyamba abavubuka okukulaakulana mu by’omwoyo? [w03 4/1 lup. 8 but. 3-4; lup. 10 kat. 3] Kabaka Yosiya bwe yali akyali muto, yasaba bamusomere Ekigambo kya Katonda. Ebyo bye yawulira byamutuuka ku mutima era ne bimukubiriza okuweereza Yakuwa n’okutumbula okusinza okw’amazima. (2 Byom. 34:14-21, 33) Okuweereza Yakuwa, Yesu teyakoma ku kukitwala ng’ekiruubirirwa, naye era yakitwala ng’omulimu gwe yalina okutuukiriza. Yafuna essanyu n’obumativu mu kukola Katonda by’ayagala. (Yok. 4:34) Abavubuka okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo, balina okumanya obulungi Omutonzi waabwe basole okumuweereza n’ekiruubirirwa ekituufu

10. Lwaki tulina okwesiga Katonda? (Nge. 3:5, 6) [w03 11/1 lup. 4 but. 6-7] Tulina okwesiga Yakuwa Katonda olw’okuba mutukuvu era tayinza kwonooneka mu mpisa. (Is. 6:3) Ate era, okwagala Katonda kw’alina kwe kumukubiriza mu buli ky’akola. (1 Yok. 4:8) Okugatta ku ekyo, atutegeera bulungi okusinga omuntu omulala yenna. (Zab. 139: 1, 6)

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Lwaki Kaana yasaba Yakuwa ‘awe kabaka amaanyi’ ng’ate mu Isiraeri temwalimu kabaka? (1 Sam. 2:10) Abaisiraeri okuba ne kabaka kyali kyayogerwako dda mu Mateeka ga Musa. (Ma. 17:14-18) Yakobo bwe yali ng’anaatera okufa, yalagula bw’ati: “Effumu [akabonero akakiikirira obuyinza bwa kabaka] teriivenga mu Yuda.” (Lub. 49:10) Ate era Yakuwa yagamba Saala jjajja w’Abaisiraeri nti: “Bakabaka b’abantu baliva mu [ggwe].” (Lub. 17:16) N’olwekyo, Kaana yali asabira kabaka eyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. [1, w05 3/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka”]

12. Abaisiraeri okuwangulibwa wadde nga baalina essanduuko y’endagaano, kituyigiriza ki? (1 Sam. 4:3, 4, 10) Kituyigiriza nti kya kabi okulowooza nti ebintu birina amaanyi agasinga ku g’obuntu. Wadde n’ekintu ekitukuvu nga ‘essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa’ teyasobola kuwa bantu bukuumi. Tulina ‘okwewala okusinza ebifaananyi.’ (1 Yok. 5:21) [1, w05 3/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka”; w02 7/1 emp. 6-8]

13. Lwaki 1 Ebyomumirembe 2:13-15 woogera ku Dawudi ng’omwana wa Yese ow’omusanvu, ng’ate 1 Samwiri 16:10, 11 walaga nti yali wa munaana? Ebyawandiikibwa biraga nti Yese ‘yalina abaana ab’obulenzi munaana.’ (1 Sam. 17:12) Kirabika omu ku batabani be yafa mangu nga tanawasa era nga tazadde baana. Olw’okuba teyalina baana, yali tasobola kufuna busika bwonna mu kika kyabwe, era yali tasobola kubeera ku lunyiriri lw’obuzaale olw’abaana ba Yese. [5, w02 9/15 lup. 31]

14. ‘Omwoyo omubi’ ogwanakuwaza Sawulo, gwe guluwa? (1 Sam. 16:14) Omwoyo omubi ogwanakuwaza Sawulo, by’ebirowoozo ebibi ebyamuli ku mutima​—endowooza ey’okukola ekibi gye yalina. Yakuwa bwe yamuggyako omwoyo gwe omutukuvu, Sawulo yali takyalina bukuumi bwagwo, era mu kiseera ekyo yatandika okukubirizibwa omwoyo omubi. Okuva bwe kiri nti Katonda yakkiriza omwoyo ogwo omubi okudda mu kifo ky’omwoyo ggwe omutukuvu, omwoyo ogwo omubi gwogerwako nga ‘omwoyo omubi ogwava eri Yakuwa.’ [5, w05 3/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka”]

15. Ebyo ebyogerwako ng’ebyalagulwa “Samwiri” okuyitira mu musamize we Endoli by’ali bituufu? (1 Sam. 28:16-19) Nedda. Wadde nga Sawulo yatuusibwako ebisago eby’amaanyi nga balwana n’Abafirisuuti, ye kennyini ye yetta. (1 Sam. 31:1-4) Ate era okwawukana ku ekyo ekyali kiraguddwa nti abaana ba Sawulo bonna bandifiiridde wamu naye, mutabani we Isubosesi yawonawo. [8, w88 1/15 lup. 3 but. 3-4]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza