LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/05 lup. 6
  • Okusoma Brocuwa Beera Bulindaala

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okusoma Brocuwa Beera Bulindaala
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Maayi 23
  • Wiiki Etandika Maayi 30
  • Wiiki Etandika Jjuuni 6
  • Wiiki Etandika Jjuuni 13
  • Wiiki Etandika Jjuuni 20
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 4/05 lup. 6

Okusoma Brocuwa Beera Bulindaala

Ebibiina byonna okwetooloola ensi bijja kusoma Brocuwa Beera Bulindaala! mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Enteekateeka eno ejja kutandika mu wiiki etandika Maayi 23 okutuuka mu wiiki etandika Jjuuni 20, 2005. Musabibwa okukozesa ebibuuzo bino wammanga nga mutegeka enkuŋŋaana era nga muzikubiriza. Musome obutundu bwonna n’ebyawandiikibwa ebitasimbuliziddwa butereevu okuva mu Baibuli obudde bwe buba bubasobozesa.

Wiiki Etandika Maayi 23

◼ Empapula 3-4: Ku mbeera eziragiddwa wano eriwa ekukutteko ennyo? Kiki ekikulaga nti embeera zino ziri mu buli kifo?

◼ Olupapula 5: Okakasiza ku ki nti Katonda afaayo? Biki bye tuyinza okukola okulaga nti tufaayo ku ebyo Katonda by’agamba ne by’akola?

◼ Empapula 6-8: Matayo 24:​1-8, 14 zituyamba zitya okutegeera amakulu g’ebyo ebiriwo mu nsi? Nga bwe kiragibwa mu 2 Timoseewo 3:​1-5, kiseera ki kye tulimu? Zino nnaku za nkomerero yaaki? Okakasiza ku ki nti Baibuli Kigambo kya Katonda? Obwakabaka bwe tubuulira kye ki?

◼ Empapula 9-​10: Lwaki twandifuddeyo nnyo ku ebyo bye tusalawo buli lunaku n’ebyo bye tukulembeza mu bulamu bwaffe? (Bar. 2:6; Bag. 6:7) Bwe weekenneenya ebibuuzo ebiri ku lupapula 10, byawandiikibwa ki by’ojjukira ebiyinza okukuyamba okusalawo obulungi?

Wiiki Etandika Maayi 30

◼ Olupapula 11: Lwaki ffenna kinnoomu twandyekenneenyezza ebibuuzo ebiri ku lupapula luno? (1 Kol. 10:12; Bef. 6:​10-​18) Engeri gye tuddamu ebibuuzo bino eraga etya nti tutwala okubuulirira kwa Yesu okuli mu Matayo 24:44 nga kukulu?

◼ Empapula 12-​14: “Ekiseera eky’omusango” ekyogerwako mu Okubikkulirwa 14:​6, 7 kye kiruwa? ‘Okutya Katonda n’okumuwa ekitiibwa’ kitegeeza ki? Babulooni Ekinene kye ki, era kiki ekinaakituukako? Kiki kye tusaanidde okukola kati ku bikwata ku Babulooni Ekinene? Kiki ekirala ekizingirwa mu kiseera eky’omusango ekyayogerwako? Okuba nti tetumanyi “lunaku newakubadde ekiseera” Katonda ky’anasalirako omusango kitukwatako kitya? (Mat. 25:13)

◼ Olupapula 15: Ensonga ekwata ku bufuzi bwa Katonda y’eruwa era etukwatako etya kinnoomu?

◼ Empapula 16-​19: “Eggulu eriggya” ne “ensi empya” kye ki? (2 Peet. 3:​13) Ani abisuubiza? Eggulu eriggya n’ensi empya binaaleeta nkyukakyuka ki? Abantu kinnoomu tunaaganyulwa mu bisuubizo ebyo?

Wiiki Etandika Jjuuni 6

◼ Empapula 20-1: Kulabula ki okw’okudduka okuva mu kibuga Yesu kwe yawa abagoberezi be ab’omu kyasa ekyasooka? (Luk. 21:20, 21) Ddi lwe bandidduse? Lwaki baali balina okudduka awatali kulwa? (Mat. 24:16-​18, 21) Lwaki abantu bangi tebafaayo ku kulabula? Abantu b’omu China n’ab’omu Philippines baaganyulwa batya bwe baagoberera okulabula okwabaweebwa? Lwaki kikulu nnyo kati okusinga bwe kyali kibadde okugoberera okulabula okuli mu Baibuli okukwata ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno? Olw’obukulu bw’ebiseera bino bye tulimu, buvunaanyizibwa ki bwe tulina. (Nge. 24:11, 12)

◼ PEmpapula 22-3: Mu Australia, mu 1974 ne mu Colombia, mu 1985, lwaki abantu bangi tebaafaayo ku kulabula okwali kulaga akatyabaga akaali kagenda okubaawo, era biki ebyavaamu? Olowooza kiki kye wandikoze singa gwe waweebwa okulabula okwo era lwaki? Kiki ekiyinza okulaga oba nga twandigoberedde okulabula okwaweebwa mu biseera bya Nuuwa? Lwaki abantu baali baagala okubeera mu kibuga Sodomu era ne mu bifo ebyali bikyetoolodde? Tuyinza kuganyulwa tutya bwe tufumiitiriza ku ekyo ekyatuuka ku Sodomu?

Wiiki Etandika Jjuuni 13

◼ Empapula 24-7: Kozesa “ebibuuzo” ebiri ku lupapula 27.

Wiiki Etandika Jjuuni 20

◼ Empapula 28-​31: Kozesa “ebibuuzo” ebiri ku lupapula 31.

Bwe tunneekenneenya brocuwa eno, kijja kutuyamba ‘okubeera obulindaala’ era n’okweteekateeka. Ka omulimu gwaffe ogw’okubuulira bulijjo gwoleke nti ebigambo bya malayika bino tubitwala nga bikulu: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.”​—Mat. 24:42, 44; Kub. 14:7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza