LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/05 lup. 4
  • Kozesa Bulungi Brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kozesa Bulungi Brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 4/05 lup. 4

Kozesa Bulungi Brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu

1 Ng’ogyeko endowooza abantu gye balina mu bitundu bingi eby’ensi, abantu abasinga obungi mu kitundu kyaffe bafaayo nnyo ku ddiini. Bangi bayinza okuba nga batwalirizibwa okusinza okw’obuwangwa okulimu obulogo n’okusinza bajjajja abaafa. Okusinza okwo kwasibuka mu njigiriza ez’obulimba ezikwata ku mmeeme n’omwoyo. Wadde nga brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki? ne Osobola Okuba Mukwano gwa Katonda! zikozeseddwa okuyamba abantu bangi, tezinnyonnyola nnyo nsonga zino. Mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwaliwo mu 2002, twafuna brocuwa empya eyitibwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo Olizudde? Okusingira ddala Brocuwa eno yategekebwa okukozesebwa mu mulimu gw’okufuula abayigirizwa mu Africa. Obadde ogikozesa bulungi?

2 Engeri y’Okugikozesaamu: Abamu beebuuza engeri y’okukozesaamu brocuwa eno empya mu buweereza. Tusobola okugikozesa okutandika okuyigiriza abantu Baibuli? Yee, tusobola. Mu Tanzania, omulabirizi w’ekitundu bwe yali abuulira n’ow’oluganda omulala nnyumba ku nnyumba, basanga omukungu ow’omu kitundu eyabaaniriza. Emabegako, omukungu ono yali aziyiza Abajulirwa, naye kati endowooza ye yali ekyuse olw’okuba Ekizimbe ky’Obwakabaka kyali kizimbiddwa mu kitundu kye. Omulabirizi w’ekitundu yeeyambisa enkola ey’okutandikirawo okuyigiriza omuntu Baibuli ng’akozesa essomo 4 eririna omutwe, “Bajjajjaffe Abaafa Bali Ludda Wa?” Baasoma essomo eryo lyonna nga mw’otwalidde n’ebyokulabirako ebiri ku lupapula 14. Oluvannyuma omukungu oyo yagamba nti, “Akatabo kano kalungi nnyo! Koogerera ddala ku bizibu byaffe. Mazima ddala, buli muntu ali mu kitundu kyaffe asaanidde okukasoma. Kalungi nnyo!” Ate era omukungu ono yakubiriza mukulu we eyali amukyalidde okusoma essomo eryo ng’amugamba nti, “Essomo lino lijja kukulaga ebintu byonna bye tukola mu kitundu kyaffe era likuyambe okulekera awo okubikola.” Oluvannyuma lw’okusoma n’omuyizi brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu, kyandibadde kirungi okusoma brocuwa Atwetaagisa omuyizi asobole okuyiga ebikolwa ebisanyusa Katonda.

3 Muyinza okuba nga mwatandika okusoma brocuwa Atwetaagisa naye ng’omuyizi akyayagala okumanya ebikwata ku mbeera y’abafu. Lwaki temusoma essomo 3 eririna omutwe, Baani Abali mu Ttwale ery’Emwoyo? n’essomo 4, eririna omutwe, Bajjajjaffe Abaafa Bali Ludda Wa? Oba bwaba alina ebibuuzo ebikwata ku busamize, muyinza okusoma essomo 5 eririna omutwe, Amazima Agakwata ku Busamize n’Obulogo. Ng’amaze okuddibwamu ebibuuzo bye, mweyongere mu maaso n’okusoma brocuwa Atwetaagisa. Ate era brocuwa eno Ekkubo Erituusa mu Bulamu ennyonnyola enjawulo eriwo wakati w’okusinza okw’amazima n’okw’obulimba era esobola okukozesebwa okuyamba abayizi okulaba obwetaavu bw’okuva mu Babulooni ekinene, amadiini ag’obulimba mu nsi yonna.​—Kub. 18:2, 4.

4 Tuyinza Tutya Okugyanjula eri Abantu: Mu katabo Reasoning mulimu ennyanjula eziri wansi w’emitwe, “Introductions for Use in the Field Ministry,” “Ancestor Worship,” “Soul” ne “Spirit” eziyinza okutuyamba okugaba brocuwa eno era nga zino wammanga ze zimu ku zo:

◼ Oyinza okubuuza nnyinimu, “Wali weebuuzizzaako obanga omuntu bw’afa aba afiiridde ddala? Oba nti waliwo ekiwonawo oluvannyuma lw’okufa?” [Muleke abeeko ky’addamu.] “Baibuli eddamu ekibuuzo kyonna kye tuyinza okuba nakyo ekikwata ku kufa.” (Soma Omubuulizi 9:5, 10.) Oluvannyuma bikkula ku lupapula 13 olwa brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu era mukubaganye ebirowoozo ku mutwe ogugamba nti: “Embeera y’Abafu.” Akatabo Reasoning ku lupapula 14

◼ Oba oyinza okubuuza, “Wali weebuuzizzaako ebikwata ku bajjajjaffe abaafa? Bali ludda wa? Basobola okutuyamba oba okutulumya?” [Muleke abeeko ky’addamu.] “Weetegereze Baibuli ky’eyogera ku bafu mu Zabbuli 49.” (Soma Zabbuli 49:10, 17-19.) Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ssomo 4 mu brocuwa. Akatabo Reasoning ku lupapula 29

5 Bayambe Okuzuula Ekkubo: Yesu yagamba nti batono nnyo abandizudde ‘ekkubo eridda mu bulamu.’ (Mat. 7:13, 14) Nga tuli basanyufu nnyo olw’okuba waliwo omuntu eyatuyamba okuzuula ekkubo eryo! Era nga tusanyuka nnyo bwe tuyamba omuntu omulala okufuuka omuyigirizwa wa Yesu n’aba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (1 Bas. 2:19) Brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu ejja kutuyamba nnyo mu mulimu guno ogw’okuwonya obulamu. Ka tugikozese bulungi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza