Lutereke
Weeyise mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa Ekitundu 2—Weegendereze Obulombolombo Obutali bwa Kikristaayo
1, 2. Obulombolombo bwonna bukyamu? Nnyonnyola.
1 Omutume Peetero yawandiika: “Abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.” (2 Peet. 3:14) Nga bagoberera okubuulirira kuno, Abajulirwa ba Yakuwa balese obulombolombo bwonna obukontana n’enjigiriza ez’Ekikristaayo. Abo abayiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa basobola okulowooza ku bumu ku bulombolombo obutasanyusa Katonda obuli mu Ssomo 11 eriri mu brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?
2 Kyo kituufu nti waliwo obulombolombo obutakontana na misingi gya Baibuli. Mu buno mulimu empisa ey’okusembeza abagenyi, okuwa abantu abakulu ekitiibwa, n’okuyamba abali mu bwetaavu. Emirundi egisinga obungi, ennyambala n’engeri y’okubuuzaamu tebikontana na misingi gya Baibuli. Kyokka, waliwo obulombolombo bungi obutasanyusa Katonda ow’amazima. Obulombolombo nga buno buli mu tuluba lye limu n’eryo Peetero lye yali ayogerako ng’alabula Abakristaayo abaasooka ku ‘bulombolombo obutaliimu bwe baali bafunye okuva ku bajjajjaabwe.’ (1 Peet. 1:18, NW) Kiba kirungi okugoberera okulabula Pawulo kwe yatuwa: “Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu, okugoberera ebyayigirizibwa abantu . . . okutali kugoberera Kristo.” (Bak. 2:8) Ka twetegereze obumu ku bulombolombo obuli mu kitundu kyaffe.
Okukomola
3, 4. (a) Lwaki abasajja baalina okukomolebwa mu Isiraeri ey’edda? (b) Kukomola kwa ngeri ki okutasiimibwa Yakuwa?
3 Baibuli tegaana kukomola basajja. Mu butuufu, okukomola lyali limu ku Mateeka Yakuwa ge yawa Abaisiraeri, era okutuusiza ddala mu kiseera Yesu kye yafiiramu omusajja yenna ataali mukomole yatwalibwanga ng’atali mulongoofu. Amateeka gaali “mutwazi eri Kristo.” Bwe kityo, okukomola abasajja leero tekubaleetera kusiimibwa Katonda era tekwetaagisa eri Omukristaayo.—Bag. 3:24; 5:6.
4 N’olwekyo, singa abazadde basalawo okukomola batabani baabwe—oboolyawo olw’okwewala endwadde—ekyo kiri gye bali. Mu bitundu ebimu, wabaawo ennaku ez’okukomolerako abalenzi ab’emyaka egimu. Okusobola okutendereza abalenzi ababa bakomoddwa era n’okulaga nti bakuze, bakola embaga okubeera okuyimba n’okuzina. Emikolo egyo gya bya ddiini, era Omukristaayo tateekwa kugyenyigiramu kubanga tegiweesa Katonda kitiibwa.
5. Kabi ki akali mu kukomola abawala?
5 Ate kiri kitya ku kukomola abawala? Akalombolombo kano akakwata ku kusalako ebitundu by’omukazi ebimu eby’ekyama, kakyagobererwa mu bitundu bingi eby’omu Afirika. Waliwo engeri nnyingi ez’okukomolamu abawala, naye zonna zibalumya nnyo. Olupapula lw’amawulire olumu lwagamba nti: “Okukomola abawala kibaviirako okulumwa, okutya, okuvaamu omusaayi omungi, okwonoona ebitundu ebirala ebiriraanyewo, okulwala, n’okufa.” Mu butuufu, abazadde Abakristaayo tebandyagadde bawala baabwe kuyita mu mbeera ng’eno! Ate n’ekisinga obubi, omukolo ogwo gulina akakwate n’okusinza okw’obulimba.
6. Misingi ki egiri mu Baibuli egiraga nti si kirungi okukomola bakazi?
6 Okukomola abawala kiviirako abakazi obutanyumirwa bya kwetaba, kyokka nga Yakuwa yabatonda okunyumirwa okwetaba n’abaami baabwe. Abo abakomola abawala bagamba nti kibayamba okusigala nga mbeerera ebbanga lyonna lye bamala nga si mufumbo. Kyokka, okusalako ebitundu by’omubiri si kye kikuuma omuwala nga mbeerera, wabula okunywerera ku misingi egy’Ekikristaayo. Awake! eya Apuli 8, 1993, yagamba: “Ebikolwa ebikyamu bisobola okuziyizibwa ng’omuntu ayigirizibwa, so si nga asalibwako ebitundu bye eby’omubiri. Ng’ekyokulabirako: Twandisazeeko emikono gy’abaana abawere okubaziyiza okufuuka ababbi nga bakuze? Oba okubasalamu ennimi baleme kwogera bigambo bibi?” Okusala ebitundu ebimu eby’ekyama eby’omwana omuwala kya kabi nnyo era kiviirako omuntu okuvunaanibwa okuyiwa omusaayi. (1 Byom. 11:17-19; Zab. 51:14) Omuntu yenna asemba akalombolombo ako ak’obukambwe aba tassa kitiibwa mu Yakuwa “ensibuko y’obulamu” era Omugabi wa “buli kirabo kirungi.” Okugatta ku ekyo, mu bitundu gavumenti gye ziweze akalombolombo ako, abazadde Abakristaayo balina okussa ekitiibwa mu teeka lino. (Zab. 36:9; Yak. 1:17; Bar. 13:1) Abazadde Abakristaayo abakkiriza abaana baabwe abawala okukomolebwa, tebasaanidde kuweebwa nkizo za buweereza mu kibiina. Ate era ne bannyinnaffe abeewaayo okukomolebwa tebasaanidde kuweebwa nkizo.
Ensiriba ne Yirizi
7. Okwambala ensiriba ne yirizi bikwataganyizibwa na ki?
7 Mu byafaayo by’omuntu, abantu bambadde yirizi n’ensiriba olw’okwagala okwekuuma akabi. Ensiriba ezimu zikolebwa mu byoya bya bisolo, amagumba, amannyo, oba enjala zaabyo. Endala zikolebwa mu byuma, obugoye, embira, oba ebimera. Mu Misiri ey’edda, embira, yirizi, n’ensiriba byayambalwanga nga bagenda kusamira.
8. Bibuuzo ki ebituyamba okulaba akabi akali mu kwambala ensiriba ne yirizi?
8 Singa Omukristaayo aba n’ebintu nga bino ayinza okwebuuza: ‘Lwaki nnina ensiriba oba yirizi? Ddala biyinza okunkuuma ne sifuna bulwadde, bubenje, ne sirogebwa oba ne sirumbibwa myoyo mibi? Bwe mbyambala abalala bakwatibwako batya? Ab’eŋŋanda zange bwe banaalaba ng’abaana bange babyambadde, tebankubirize kwenyigira mu mikolo egy’ekikaafiiri emirala?’ Ebintu nga bino tebiwa bukuumi. Mu kifo ky’ekyo, biyinza okuleetera omuntu okulumbibwa badayimooni oba okwenyigira mu by’obusamize. Ensiriba oba yirizi tebyambalwa lwa kuba omuntu ayagala kunyuma. Naye, bikwataganyizibwa na bya busamize, ekikolwa ekyonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.—Ma. 18:10-12; Bag. 5:19-21; Kub. 21:8.
Ebintu Ebisabibwa ab’Ewaabwe w’Omugole n’Embaga
9. (a) Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa abazadde Abakristaayo gye balina okugoberera nga bateeseganya ku bintu bye banaasaba? (b) Lwaki ow’oluganda agenda okufumbiza muwala we teyandikkirizza baŋŋanda abatali bakkiriza okusala ebintu n’okuteekateeka embaga?
9 Ebirabo ebiweebwa abazadde b’omugole omukazi byogerwako mu Baibuli. Bwe baali bateeseganya ku kya Lebbeeka okufumbirwa Isaaka, omuddu wa Ibulayimu ‘y’aleeta amakula ga ffeeza n’aga zaabu n’ebyambalo.’ (Lub. 24:53) Ebintu bino yabiwa Lebbeeka, nnyina, ne mwannyina wa Lebbeeka, abaali ab’eŋŋanda ab’oku lusegere. Tewali Byawandiikibwa biraga nti n’ab’eŋŋanda abalala baaweebwanga ebintu. Kati olwo, abazadde Abakristaayo bandikkirizza ab’eŋŋanda abatali bakkiriza okusala ebintu nga bagaba muwala waabwe? Emirundi egisinga ab’eŋŋanda abo basaba ebintu bingi nnyo oba bagezezaako “okutunda” omuwala waabwe eri oyo alina ssente ennyingi. Abazadde ab’amagezi beesamba omwoyo gw’okululunkanira ebintu era muwala waabwe bamugabira omuntu ayagala Yakuwa era omunyiikivu mu mirimu egy’Ekikristaayo, ng’akulembeza Obwakabaka mu bulamu bwe.
10. Obumu ku bulombolombo obutateekwa kubeera ku mbaga ez’Ekikristaayo bwe buluwa?
10 Embaga ez’Abakristaayo zandiweesezza ettendo n’ekitiibwa oyo Eyatandikawo obufumbo, Yakuwa Katonda. Pawulo yakubiriza abakkiriza nti: “Oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.” (1 Kol. 10:31) Abakristaayo tebandyagadde mbaga yaabwe kuleeta kivume ku Yakuwa oba ekibiina kye. Embaga ey’Ekikristaayo tesaanidde kubaako luyogaano oba okutamiira. Mu bitundu ebimu ebya Afirika, kya bulijjo ku mbaga okubaako ennyimba n’okuzina n’obulombolombo obw’okufuna oluzaalo, era n’obulala obw’ekikaafiiri. Ebintu nga bino tebiteekwa kubeera ku mbaga ez’Ekikristaayo.
11. Lwaki tusaanidde okwegendereza bwe tuba ab’okukozesa Ekizimbe eky’Obwakabaka mu kugatta abagole?
11 Ekizimbe eky’Obwakabaka bwe kiba nga kye kigenda okukozesebwa okugatta abagole, tusaanidde okwegendereza. Abakadde balina okukakasa nti enteekateeka z’embaga tezikontana na misingi gya Kikristaayo. Watchtower aka Apuli 15, 1984, kawa okubuulirira kuno: “Mu Kizimbe [eky’Obwakabaka,] ennyimba ezizimba zokka ze zirina okukozesebwa, gamba ng’ezo eziri mu katabo k’ennyimba aka Abajulirwa ba Yakuwa. Ebimuli oba ebirala byonna ebitiimbibwa, engeri abagole gye bayingiramu, n’okukuba ebifaananyi birina okuba nga bisaanira.—Abafiripi 4:5.” Ate abo ababa bayitiddwa ku mbaga? Magazini y’emu egattako: “Kyetaagisa amagezi okusobola okusalawo bantu bameka abanaabeera ku mbaga, engeri gye banaayambalamu ne gye baneeyisaamu. Tekisaana kuyita bantu abaagobebwa mu kibiina oba abo abatambulira mu bulamu obukontana n’emisingi gya Baibuli. (2 Abakkolinso 6:14-16) Mu kifo ky’okuyita abantu abatutumufu oba abo abayinza okubawa ebirabo eby’ebbeeyi, Abakristaayo bangi abagenda okufumbiriganwa (oba aboogezi) basalawo okuyita abo bwe bali obumu mu kuweereza Yakuwa.”
12. Biki ebirala ebyetaagisa Omukristaayo okukozesa amagezi era n’obutagwa lubege ng’ateekateeka embaga?
12 Mu kuteekateeka embaga, abagenda okufumbiriganwa baba na bingi eby’okusalawo. Nga mu bino muzingiramu ekika ky’engoye ze banaayambala ne langi yaazo, oba nga banaayambala empeta oba nedda, n’omuwendo gw’abagenyi be banaayita. Awatali kubuusabuusa abagenda okufumbiriganwa basaanidde okwoleka amagezi era tebalina kugwa lubege mu ebyo bye basalawo. Ng’ekyokulabirako, mu nsi kya bulijjo okukozesa emmotoka ezitimbiddwa eziwerako olw’okweraga. Omukristaayo yandibadde na ndowooza ki ku kino? Watchtower aka Apuli 15, 1997, kaagamba bwe kati: “Wadde nga Yesu yagenda ku mbaga, tekisoboka kuba nti yandisiimye akalombolombo ak’okuvuga abagole mu luseregende lw’emmotoka ng’eno bwe bagenda bakuba eŋŋombe; oluusi poliisi etanza abavuga abagole nga bagenda bakuba eŋŋombe. (Laba Matayo 22:21.) Mu kifo ky’okukoppa omwoyo gw’okweraga oba ebyo ebikolebwa abantu ab’ensi, Abakristaayo booleka amagezi n’obwetoowaze.”
Okusula ku Bafu n’Okuziika
13. (a) Kikyamu okunakuwala oba okukaaba ng’ofiiriddwa omwagalwa wo? (b) Bulombolombo ki obw’okukungubaga obutasaanidde kwenyigirwamu oyo akkiririza mu kuzuukira?
13 Ffenna tuwulira ennyiike y’amaanyi bwe tufiirwa omwagalwa waffe. Ennaku ey’amaanyi eyinza okuviirako Omukristaayo okukaaba, nga ne Yesu omusajja eyali atuukiridde bwe ‘yakaaba amaziga’ ng’ali wamu n’abo abaali bakungubagira mukwano gwe Lazaalo. (Yok. 11:35) Kyokka, ne bwe baba mu nnaku, Abakristaayo beewala obulombolombo obukwata ku kukungubaga obugobererwa mu bitundu bingi eby’omu Afirika. Obulombolombo obumu buzingiramu okutankuula enviiri oba okuzimweerako ddala, okwambala engoye eziddugala n’okwesuula wansi, okwesansabaga, n’okukaabira awamu ng’abayimba. Ng’Abakristaayo ab’amazima, bwe twewala okukungubaga mu ngeri eyo kiraga nti tukkiriza nti ekiseera kijja kutuuka abaagalwa baffe bazuukire.—Yobu 14:14, 15; Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15.
14. Akalombolombo ak’okusula ku bafu kayinza kuleeta bizibu ki eri amaka agaba gafiiriddwa?
14 Kya bulijjo mu bitundu bingi abantu okusula ku bafu. Abantu bangi basula batunula, nga bayimba, bakaaba, oba nga banywa omwenge. Ebintu bino biviirako okusaasaanya ssente nnyingi. Bagula emmere, basala ebisolo, bapangisa weema n’emmotoka ze banaakozesa. Ebintu nga bino biyinza okuleka abafiirwa nga balina amabanja mangi era ne bibaviirako okwenyigira mu mpisa ezitali za Kikristaayo. Ate nga mazima ddala ebintu ebyo tebyetaagisa. Okwewalira ddala obulombolombo ng’obwo kiyinza okuviirako abantu okutuyigganya, naye kireeta emikisa okuva eri Katonda.—2 Tim. 1:7.
15, 16. Biki ebisinziirwako okusalawo awanaaziikibwa?
15 Ate kiri kitya ku kifo awaziikibwa? Lowooza ku byokulabirako ebimu ebiri mu Baibuli. Ibulayimu yagula ettaka aw’okuziikanga ab’omu maka ge. (Lub. 23:3-20; 25:9; 49:29-32) Yusufu yatuukiriza ekyo kye yasuubiza kitaawe ng’atwala omulambo gwe e Kanani okuguziika. Kirabika, Falaawo yawa Yusufu ebyali byetaagisa byonna asobole okutuukiriza ekyo kitaawe kye yamusaba.—Lub. 47:29, 30; 50:6-13.
16 Ennaku zino, ab’eŋŋanda ab’oku lusegere be bavunaanyizibwa okuteekateeka eby’okuziika, ng’oluusi ekifo awanaaziikibwa kisinziira ku mateeka agafuga ensi. Abamu batwala omulambo ku biggya bya bajjajjaabwe. Oluvannyuma lw’okubalirira ssente ezinaakozesebwa, ab’omu maka g’oyo aba afudde be balina okusalawo ku nsonga eyo. (Luk. 14:28) Abamu basaasaanya ssente nnyingi nga batwala omulambo ku biggya bya bajjajjaabwe, wadde nga waliwo ekifo eky’okumpi awayinza okuziikibwa omuntu. Lwaki? Kubanga abasinga obungi balowooza nti bwe baziikibwa ku biggya bya bajjajjaabwe, basisinkana emyoyo gya bajjajja abaafa. Ng’Abakristaayo, tetusalawo nga tusinziira ku ndowooza ng’ezo.—Mub. 9:5, 10.
17. Bulombolombo ki obubaawo mu kukungubaga, Omukristaayo bw’alina okwewala?
17 Mu bitundu ebimu balina akalombolombo ak’omukyala afiiriddwa bba okwetaba ne baganda ba bba mu kiseera eky’okukungubaga, kyokka omukyala Omukristaayo talina kwekkiriranya mu nsonga eno. Ekikolwa ekyo kikontanira ddala n’emisingi gya Yakuwa egikwata ku mpisa ate era kiba kya kabi eri obulamu bw’omukyala. Omukyala Omukristaayo tayinza n’akamu kukola kintu ng’ekyo.
18. (a) Singa Omukristaayo asabibwa okuwa emboozi ku mukolo gw’okuziika, biki by’alina okulowoozaako? (b) Abakristaayo bayinza batya okulaga nti bafaayo ku bafiirwa?
18 Abajulirwa ba Yakuwa bakola enteekateeka emboozi eyeesigamiziddwa ku Baibuli n’eweebwa ng’omuntu afudde. Omukristaayo bw’asabibwa okuwa emboozi ng’eyo, alina okugoberera ekiwandiiko ekimuweebwa era tajja kukkiriza kubeera ku programu okuli aboogezi abalala abagoberera obulombolombo obutali bwa Kikristaayo, oba abanaayogera ebintu ebikontana n’Ebyawandiikibwa. Omukolo gw’okuziika gulina okuba nga gubudaabuda, era nga gwa kitiibwa. Emboozi etera okuweebwa mu kiseera eky’okuziikiramu, ezzaamu amaanyi mu by’omwoyo abo ababa bafiiriddwa n’ab’emikwano. Wadde nga kikolwa kya kwagala okukyalira abafiirwa enfunda n’enfunda, tekyetaagisa kukyala kiseera kiwanvu nga muli mu bibinja ebinene era ne mukola n’enteekateeka ez’okuyimba ennyimba ez’Obwakabaka. Okuteekateeka emikolo gy’okuziika mu ngeri ennyangu, kiyamba obutasaasaanya ssente ku bintu ebiteetaagisa era oluusi obuyambi obuba bufuniddwa okuva mu baganda baffe Abakristaayo buba busobola okusasulira ebyetaagisa. N’olwekyo ekibiina tekikyetaagisa kubeera na nsawo ey’okusondanga ssente ez’okuyamba ab’oluganda ababa bafiiriddwa oba ez’okukola ku bizibu ebiba biguddewo embagirawo.
Sigala mu Kwagala kwa Katonda
19. (a) Kiki ekinaatuyamba obutagoberera bulombolombo obugobererwa mu kitundu? (b) Lwaki oli mumalirivu okweyawula ku nsi etatya Katonda?
19 Nga tuweereza Yakuwa mu nsi etamumanyi, tetusobola kwewala kufuna ebizibu. Kyokka, tekisoboka kussaawo mateeka agakwata ku buli mbeera. N’olwekyo, kikulu okutuukirira Yakuwa mu kusaba atuwe amagezi n’okutegeera nga tulina bye tusalawo oba nga tulina ensonga gye tugonjoola. (Yak. 1:5) Abakadde mu kibiina bajja kukubaganya naffe ebirowoozo ku misingi gya Baibuli egituukirawo tusobole okusalawo obulungi. Bwe tuneeyisa mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa, tujja kusigala “mu kwagala kwa Katonda . . . nga tulina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu birowoozo byaffe.”—Yuda 21; 2 Peet. 3:13.