Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Tujja kugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube nnyo okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abo abajja ku kijjukizo oba abo abaaliwo mu nkuŋŋaana endala ez’Ekikristaayo naye nga tebatera kubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, gezaako okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Jjuuni: Tujja kugaba akatabo Is There a Creator Who Cares About You? oba Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka. Era tuyinza n’okugaba akatabo Okumanya.
◼ Ebibiina bisaanidde okuwa ababuulizi Watchtower ne Awake! amangu ddala nga zaakatuuka. Ekyo kijja kubayamba okumanya ebizirimu nga tebannaba kuzigaba mu buweereza obw’ennimiro.
◼ Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu gw’alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina eby’omwezi gwa Ddesemba, Jjanwali, ne Febwali. Ng’ekyo kimaze okukolebwa, mukirange eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.—Laba obulagirizi obuli mu foomu eyitibwa Instructions for Congregation Accounting (S-27).
◼Bwe kiba kituukirawo, omuwandiisi owa buli kibiina ekirina Ekizimbe ky’Obwakabaka asaanidde okukakasa nti ssente za busuulu eza buli mwaka zaasasulibwa. Mukakase nti ofiisi y’ettabi efuna kopi ya lisiiti kwe mwasasulira busuulu.