Programu Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Maaki 12
Oluyimba 28
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 4 oba endala ezituukagana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Febwali 15 ne Awake! eya Febwali.
Ddak. 15: Omwagalwa Wo bw’Ayabulira Yakuwa. Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Ssebutemba 1, 2006, olupapula 17-21.
Ddak. 20: “Mukolenga Bwe Mutyo Okunjijukiranga Nze.”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, yogera ne ku ebyo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2006, olupapula 1, akatundu 3, akakwata ku ngeri gye tuyinza okukozesaamu akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza okunnyonnyola abaagala amazima ebikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo.
Oluyimba 74 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maaki 19
Oluyimba 20
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango Ebimu Okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Yogera ku nsonga enkulu eziri mu kasanduuko akalina omutwe “Okwejjukanya Ebikwata ku Kijjukizo” akali ku lupapula 3.
Ddak. 20: Engeri gy’Oyinza Okugaziyaamu Obuweereza Bwo. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized to Do Jehovah’s Will essuula 10.
Ddak. 15: “Wandizzeemu Otya?”b Laga ekyokulabirako mu bufunze ku ngeri ebiri wansi w’omutwe guno gye biyinza kukozesebwamu oluusi n’oluusi mu kusoma kw’amaka.
Oluyimba 34 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maaki 26
Oluyimba 33
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maaki. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugaba Watchtower eya Maaki 1 ne Awake! eya Maaki awamu n’obupapula obuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: Obulamu Bwange Nsaanidde Kubukozesa Ntya? Kwogera okwesigamiziddwa ku Awake! eya Jjulaayi 2006, olupapula 23-5. Fundikira ng’obuuza ebibuuzo omuntu omu oba babiri abaayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna amangu ddala nga baakamaliriza emisomo gyabwe egya siniya. Lwaki baasalawo okuyingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna? Mikisa ki gye bafunye?
Oluyimba 63 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 2
Oluyimba 79
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Yogera ku katundu akali ku lupapula olusembayo mu Watchtower eya Apuli 1, 2007, era okubirize ababuulizi okuyita abantu abaagala okumanya ebisingawo okubaawo ku kwogera kwa bonna okw’enjawulo okujja okuweebwa nga Apuli 15.
Ddak. 20: Weeyongere Okuyamba Abo Abaaliwo ku Mukolo gw’Ekijjukizo. Kwogera kw’omukadde. Bategeeze omuwendo gw’abantu bonna abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu kibiina kyammwe era n’ogw’abagenyi abaaliwo. Bategeeze ebyokulabirako ebirungi ebikwata ku abo abakkiriza akapapula ak’enjawulo akayita abantu ku Kijjukizo oba abo abaatuukirira ab’oluganda abaaniriza abagenyi oluvannyuma lw’omukolo guno ne basaba okuyigirizibwa Baibuli. Wa ebirowoozo ku ngeri y’okweyongera okuyamba abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo okukulaakulana mu by’omwoyo. (Laba km 3/06 lup. 1, kat. 5; km 2/05, lup. 3, kat. 9; km 2/04 lup. 5, kat. 16.) Kubiriza ababuulizi okuddayo eri abantu abo amangu ddala nga bwe kisoboka.
Ddak. 15: Kozesa Bulungi Akatabo 2007 Yearbook. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Mukubaganye ebirowoozo ku nsonga enkulu eziri mu “Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko akafuzi.” Nokolayo ebimu ku biri mu “Alipoota ey’Ensi Yonna.” Kola enteekateeka nga bukyali wabeewo aboogera ku ebyo ebyasinga okubaganyula era ne binyweza okukkiriza kwabwe. Kubiriza bonna okusoma akatabo ako konna ng’omwaka guno tegunnaggwako. Wa ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okukakozesaamu okuyamba abappya okujja mu kibiina kya Yakuwa era n’okubakubiriza okubeerangawo mu nkuŋŋaana.
Oluyimba 25 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebyogerwa mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b Ebyogerwa mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.