“Mwetikke Ekikoligo Kyange”
1 Mu nsi eno ejjudde ebizibu n’okweraliikirira, tufunye obuweerero obwa nnamaddala olw’okuba tukkirizza okwetikka ekikoligo kya Yesu. (Mat. 11:29, 30) Okwetikka ekikoligo kya Yesu eky’okuba omuyigirizwa we kizingiramu okukola omulimu omuzibu kyokka ate nga guzzaamu amaanyi. Kizingiramu okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era n’okuyamba abalala okufuna ekiwummulo mu kwetikka ekikoligo kya Yesu.—Mat. 24:14; 28:19, 20.
2 Okufuna Ekiwummulo mu Buweereza: Yesu teyagamba bagoberezi be kwetikka mugugu gwe awamu n’egyo gye baali beetisse. Yabasaba okwetikkula emigugu gyabwe emizito, beetikke ogugwe oguwewuka. Tetukyazitoowererwa ebyeraliikiriza eby’omu nteekateeka y’ebintu eno, era tetukyaluubirira bya bugagga bitaliimu. (Luk. 21:34; 1 Tim. 6:17) Wadde nga tulina okukola ennyo okusobola okufuna bye twetaaga buli lunaku, kye tusinga okutwala ng’ekikulu mu bulamu bwaffe kwe kusinza Katonda. (Mat. 6:33) Singa tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ebyo ebisinga obukulu, tujja kufuna essanyu mu buweereza era tetujja kubutwala ng’omugugu.—Baf. 1:10.
3 Ffenna tunyumirwa nnyo okwogera ku ebyo bye twagala. (Luk. 6:45) Abakristaayo bonna baagala nnyo Yakuwa n’ebisuubizo bye eby’Obwakabaka. N’olwekyo, nga kizzaamu nnyo amaanyi okwogera ku ‘mawulire amalungi ag’ebintu ebirungi’ era n’obutalowooza nnyo ku ebyo ebitweraliikiriza bwe tuba tuli mu buweereza! (Bar. 10:15) Kya lwatu, gye tukoma okukola ekintu, gye tukoma okukifunamu obumanyirivu n’essanyu. N’olw’ensonga eyo, okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza, bwe tuba tusobola, kijja kutuviiramu essanyu lingi. Era nga kituzzaamu nnyo amaanyi abantu bwe basiima obubaka bwaffe! (Bik. 15:3) Ne bwe tusanga abantu abateefiirayo oba abo abatuwakanya, tujja kufuna essanyu mu buweereza bwaffe singa tukijjukira nti okufuba kwaffe kusanyusa nnyo Yakuwa era nti emikisa gy’atuwa gye gitusobozesa okufuna ebibala ebirungi.—Bik. 5:41; 1 Kol. 3:9.
4 Bwe tukkiriza okwetikka ekikoligo kya Yesu, tufuna enkizo ey’okuweerereza awamu naye ng’Abajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:10; Kub. 1:5) Teri kintu kituzzaamu maanyi okusinga ekyo!