‘Weeteeketeeke Okukola Buli Mulimu Omulungi’
1 Yesu bwe yatandikawo kaweefube omupya ow’okubuulira, yafissaawo akadde n’ateekateeka abayigirizwa be. (Mat. 10:5-14) Wadde nga ffenna tulina eby’okukola bingi, bwe tufissaawo ekiseera, ne bwe kiba kitono kitya, ne tweteekateeka nga tetunnagenda kubuulira nnyumba ku nnyumba, kijja kutuviiramu emiganyulo mingi.—2 Kol. 9:6.
2 Engeri y’Okweteekateekamu: Okusobola okuba abeeteefuteefu obulungi kitwetaagisa okusooka okumanya ebyo ebiri mu bitabo bye twagala okugaba. Ate era tusaanidde n’okulowooza ku bantu ab’omu kitundu kye tubuuliramu. Bintu ki ebibeeraliikiriza? Njigiriza ki ez’eddiini ze bakkiririzaamu? Tusobola okukozesa ennyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka awamu n’ezo eziri mu katabo Reasoning From the Scriptures.
3 Ekirala ekijja okutuyamba okweteekateeka kwe kussaayo omwoyo ng’ebyokulabirako biragibwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza. Gye tukoma okufuna obumanyirivu mu kukozesa ennyanjula zaffe, gye tukoma okuba nga twetaaga obudde butono okweteekateeka. Wadde kiri kityo, bwe tulowooza ku ebyo bye tugenda okwogera era ne tweyongera okulongoosa mu nnyanjula zaffe buli lwe tuba tugenda mu buweereza, kijja kutuyamba okubuulira mu ngeri esingako obulungi. Ate era, nga tetunnagenda mu nnimiro, tusaanidde okukakasa nti ensawo zaffe zirimu ebitabo bye twetaaga.
4 Kiki ekinaatuyamba okujjukira ennyanjula zaffe? Ekimu ku byo kwe kwegezaamu mu ddoboozi eriwulikika. Abamu bwe baba mu kusoma kwabwe okw’amaka, bafissaawo akadde ne beegezaamu. Abalala bakisanze nga kya muganyulo okuwandiika ennyanjula yaabwe ku kapapula, era ne bagitunulako nga banaatera okutuuka ku nnyumba y’omuntu.
5 Ensonga Lwaki kya Muganyulo: Bwe tweteekateeka obulungi kitusobozesa okutuuka ku mitima gy’abantu era n’okufuna essanyu mu buweereza. Kituyamba obutafuna kiwuggwe nga tutuuse ku nnyumba y’omuntu. Kitusobozesa okussa ebirowoozo byaffe ku nnyinimu mu kifo ky’okubissa ku ebyo bye tugenda okwogera. Okugatta ku ekyo, bwe tuba tumanyi bulungi ebyo ebiri mu kitabo kye twagala okugaba kitusobozesa okwogera n’ebbugumu.
6 Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okweteekerateekera buli mulimu mulungi.’ (Tito 3:1) Mulimu ki omulungi ogusinga ogwo ogw’okubuulira amawulire amalungi? Bwe tweteekateeka obulungi, tuba tulaga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa Katonda gwe tukiikirira awamu ne nnyinimu gwe tugenda okubuulira.—Is. 43:10.