Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 27, 2008. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Ssebutemba 1 okutuuka mu wiiki etandika nga Okitobba 27, 2008.
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Tuyinza tutya okutegeera ensonga lwaki abantu bakkiriza ebintu ebimu? [be lup. 259 kat. 1, 2]
2. Tuyinza tutya okuyamba omuntu okuvvuunuka obukyayi oba obusosoze? [be lup. 260 kat. 2]
3. Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe okwekebera basobole okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo? [be-LU lup. 261 kat. 2]
4. kiki kye tusaanidde okujjukira nga tufuba okutuuka ku mitima gy’abo abatuwuliriza? [be-LU lup. 262 kat. 4]
5. Lwaki tusaanidde okufaayo ku kukuuma ebiseera nga tuweereddwa ebitundu mu nkuŋŋaana z’ekibiina? [be lup. 263 kat. 1, 3, akasanduuko]
EMBOOZI 1
6. Kiki ekyaleetera Pawulo okuwandiika ebbaluwa ye esooka eri Abakkolinso? [bsi08-1-LU lup. 20 kat. 3]
7. Ezimu ku nsonga ezaaviirako Pawulo okuwandiika ebbaluwa ye ey’okubiri eri Abakkolinso ze ziruwa? [bsi08-1-LU lup. 22 kat. 1-2]
8. Abakristaayo basaanidde kutwala batya obuweereza bwabwe? [bsi08-1-LU lup. 23 kat. 18]
9. Okufaananako ab’oluganda mu Firipi, tuyinza tutya okusiimibwa Katonda era n’okuleetera baganda baffe essanyu? [bsi08-1-LU lup. 29 kat. 12]
10. Okwagala Pawulo ne baweereza banne kwe baalina kwakwata kutya ku b’oluganda mu kibiina ky’e Sessaloniika? [bsi08-2-LU lup. 4 kat. 13]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Kitegeeza ki “okuwaayo [omusajja omubi] eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gulokoke”? (1 Kol. 5:5) [w08-LU 7/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abakkolinso”]
12. Mirundi emeka okufa kwa Yesu gye kulina okujjukirwa, era ‘kutuusa’ ddi? (1 Kol. 11:26) [w08-LU 7/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abakkolinso”]
13. Kwolesebwa ki okwogerwako mu 2 Abakkolinso 12:2-4, era kirabika ani yafuna okwolesebwa okwo? [w04-LU 11/1 lup. 8 kat. 4; lup. 10 kat. 9]
14. Lwaki Pawulo yageraageranya Amateeka ga Musa ku ‘mutwazi eri Kristo’? (Bag. 3:24) [wp08 04/01-LU lup. 18-21]
15. Pawulo yali ategeeza ki bwe yasabira ab’oluganda nti ‘omwoyo gwabwe, obulamu bwabwe n’omubiri gwabwe bikuumibwe’? (1 Bas. 5:23) [w08-LU 9/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abasessaloniika ne Timoseewo”]