Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 12
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 12
Oluyimba 70
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl-LU sul. 12 ¶7-15
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 6-10
Na. 1: Olubereberye 9:1-17
Na. 2: By’Oyinza Okuddamu Abo Abatakkiririza mu Katonda (rs lup. 150 ¶3–lup. 151 ¶3)
Na. 3: Ebbaluwa Okuva eri Katonda ow’Okwagala (lr sul. 2)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 10: Omuganyulo Oguli mu Kuba n’Endowooza Ennuŋŋamu mu Buweereza Bwaffe. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kubanga abo be yabuuliranga yabatwalanga ng’endiga ezeetaaga obuyambi. (Mat. 9:36-38) Wadde nga mu kusooka Ananiya yali atya okugenda eri Sawulo, kiki ekyamuyamba okukyusa endowooza ye? (Bik. 9:13-15) Engeri Ananiya gye yayogeramu ne Sawulo, eraga etya nti yalina endowooza ennuŋŋamu gy’ali? (Bik. 9:17) Nsonga ki ezandituleetedde okubuulira abantu nga tulina endowooza ennuŋŋamu? Okuba n’endowooza ennuŋŋamu kinaasobozesa kitya obuweereza bwaffe okweyongera okuba obulungi? Mu bufunze, buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abafunye ebibala mu buweereza olw’okuba n’endowooza ennuŋŋamu.
Ddak. 10: Engeri y’Okukozesaamu Akatabo Reasoning From the Scriptures. Kwogera kw’omulabirizi w’obuweereza oba omukadde omulala yenna nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 7-8.
Ddak. 10: “Banaawulira Batya?”*
Oluyimba 17
[Obugambo obuli wansi]
Byogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.