Banaawulira Batya?
1. Kiki ekiyinza okuleetera omulimu gw’okubuulira obutaba mwangu, era lwaki twandyeyongedde okugukola?
1 Ng’olunaku lwa Yakuwa lugenda lusembera, kitwetaagisa okufuba ennyo okuyamba enkumi n’enkumi z’abantu okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda awamu n’ebigendererwa bye eri olulyo ly’omuntu. (Yok. 17:3; 2 Peet. 3:9, 10) Oluusi kino kiyinza obutaba kyangu, okuva bwe kiri nti abantu bangi tebeefiirayo era nga bayinza okutusekerera olw’omulimu gwaffe ogw’okubuulira. (2 Peet. 3:3, 4) Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti mu kitundu kyaffe mukyalimu abo abasobola okukkiriza amawulire amalungi singa bagawulira. Naye abo banaagawulira batya awatali ababuulira?—Bar. 10:14, 15.
2. Ekyokulabirako ky’omutume Pawulo kitukubiriza kukola ki?
2 Okwolekagana n’Okuziyizibwa: Okuva bwe kiri nti wakyaliwo bangi abaagala okuwulira obubaka bw’Obwakabaka, tetulina kulekera awo kubuulira. Firipi kye kibuga Pawulo kye yasooka okubuuliramu amawulire amalungi mu Bulaaya. Nga bali eyo, Pawulo ne Siira bakubibwa emiggo era ne basuulibwa mu kkomera nga bavunaanibwa eby’obulimba. (Bik. 16:16-24) Wadde kyali kityo, obulumi Pawulo bwe yalina tebwamuleetera kulekera awo kubuulira olw’okutya. Bwe yali mu Ssesaloniika, ekibuga kye yaddako okukyalira ng’ali ku lugendo lwe olw’obuminsani, Pawulo ‘yafuna obuvumu okuva eri Katonda.’ (1 Bas. 2:2) Ekyokulabirako kya Pawulo tekituyamba okutegeera ensonga lwaki tulina okubuulira ‘awatali kulekulira.’?—Bag. 6:9.
3. Kiki ekiyinza okuviirako abamu okuwuliriza obubaka bwaffe wadde nga mu kusooka baali tebabwagala?
3 Bangi abamaze emyaka mingi nga tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe kati bakyusizza endowooza yaabwe. Okuddirira kw’eby’enfuna, obulwadde, okufiirwa mu maka, oba okuwulira amawulire agakwata ku bintu ebibi ebiriwo mu nsi, biyinza okuba nga bye biviiriddeko abantu ng’abo okukyusa endowooza yaabwe. (1 Kol. 7:31) Abamu abaali baziyizibwa bazadde baabwe kati bakuze era baagala okuwuliriza obubaka bwaffe. Bwe tweyongera okubuulira kiwa omukisa abalinga abo ‘okukoowoola erinnya lya Yakuwa’ ng’ekiseera tekinnaggwayo.—Bar. 10:13.
4. Kiki ekitukubiriza okweyongera okubuulira “awatali kuddirira”?
4 “Awatali Kuddirira”: Okwagala kwe tulina eri Katonda ne muliraanwa waffe kujja kutukubiriza okweyongera okukola omulimu ogw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa “awatali kuddirira,” ng’abatume bwe baakola mu kyasa ekyasooka. (Bik. 5:42, NW) Bangi leero ‘bassa ebikkowe era bakaabira emizizo gyonna’ egikolebwa mu nsi. (Ez. 9:4) Ng’abantu abo bafuna essuubi n’obuweerero nga bawulidde amawulire amalungi! Abantu abasinga obungi ne bwe bagaana okuwuliriza obubaka bwaffe, Ebyawandiikibwa bitukakasa nti Yakuwa asiima nnyo okufuba kwaffe.—Beb. 13:15, 16.