Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjanwali: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, mubawe akatabo Okumanya, Sinza Katonda, brocuwa Atwetaagisa Ki?, akatabo konna ak’empapula 192 ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1995 tegunnatuuka. Febwali: Mugabe ekimu ku bitabo bino bwe muba mubirina: Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Ababuulizi basaanidde okufuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli abafunye akatabo kano oba abasangiddwa nga bakalina. Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mubawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli nga tukozesa akatabo ako.
◼ Okutandika ne Febwali, okwogera kwa bonna okunaaweebwa abalabirizi b’ebitundu kujja kuba n’omutwe “Obwakabaka bwa Katonda bye Butukolera Kati.”