Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 23
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 1
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv sul. 16 ¶9-14, akasanduuko ku lup. 192-193
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyabalamuzi 8-10
Na. 1: Ekyabalamuzi 8:1-12
Na. 2: Ddala Ababi Balibonerezebwa Emirembe n’Emirembe? (rs-E lup. 171 ¶2–lup. 172 ¶1)
Na. 3: Miganyulo Ki Egiri mu Kumanya Amazima Agakwata ku Kufa?
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli. Bategeeze olunaku oluddako lwe mugenda okuyigiririzaako abantu Baibuli. Yogera ku byokulabirako ebizzaamu amaanyi, oba buuza omulabirizi w’obuweereza oba omubuulizi omulala alina obumanyirivu ayogere ennyanjula ezisinze okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oyinza okumusaba alageyo ekyokulabirako.
Ddak. 10: Kozesa Ebintu Ebirabwako mu Buweereza Bwo. Kwogera okwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 247, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 248, akatundu 1.