LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/10 lup. 3
  • Tonnagijjuzaamu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tonnagijjuzaamu?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Similar Material
  • Tonnagijjuzaamu?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Weetegekedde Embeera Eyetaagisa Obujanjabi obw’Amangu?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Omaze Okusalawo Bujjanjabi ki bw’Oyagala?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Omaze Okusalawo Bujjanjabi Ki bw’Oyagala?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 1/10 lup. 3

Tonnagijjuzaamu?

Okujjuzaamu ki? Okujjuzaamu kaadi eyitibwa DPA (durable power of attorney) oba AMD (Advance Medical Directive) eweebwa ababuulizi ababatize. Okuva bwe kiri nti ‘tomanyi kijja kutuuka ku bulamu bwo enkya,’ kikulu nnyo okusalawo nga bukyali n’okussa mu buwandiike ebyo ebikwata ku nzijanjaba ze wandikkirizza singa ofuna obuzibu obw’amangu. (Yak. 4:14; Bik. 15:28, 29) Vidiyo eyitibwa Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights yafulumizibwa okusobola okukuyamba mu kino. Girabe, era oluvannyuma lw’okusaba, wejjukanye ebyo by’oyize ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa wammanga.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abalwadde nga balongoosebwa, abazadde basaanidde okusalawo obanga banaagirabira wamu n’abaana baabwe abato oba nedda. Vidiyo eyo bwe muba temugirina, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004 n’eya Okitobba 15, 2000, oba ekyo ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1990 ekirina omutwe “Are You Ready to Face a Faith-Challenging Medical Situation?”

(1) Lwaki abasawo abamu bazzeemu okwekenneenya enzijanjaba ey’okuteekamu abantu omusaayi? (2)  Waayo ebyokulabirako bisatu eby’okulongoosa okw’amaanyi okwakolebwa ng’abalwadde tebaweereddwa musaayi. (3) Abasawo bameka okwetooloola ensi yonna abalaze nti beetegefu okujjanjaba abalwadde nga tebakozesezza musaayi? Lwaki beetegefu okukola kino? (4) Gye buvuddeko awo, biki abasawo bye bazudde ebikwata ku kukozesa omusaayi? (5) Bizibu ki ebiva mu kuteekebwamu omusaayi? (6) Abasawo bangi bagambye ki ku bikwata ku miganyulo egiri mu kukozesa ebintu ebirala mu kifo ky’omusaayi? (7) Kiki ekireetera omuntu okuggwamu omusaayi? Omuntu bw’aba talina musaayi gumala, omubiri gwe guyinza kukigumiikiriza kutuuka wa nga tannatuukibwako kabi ka maanyi? Kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okuyamba omuntu atalina musaayi gumala? (8) Kiki ekiyinza okukolebwa okusobozesa omubiri gw’omulwadde okwongera ku bungi bw’obutofaali obumyufu? (9) Nkola ki ezeeyambisibwa okusobola okuyamba omuntu obutavaamu musaayi mungi ng’alongoosebwa? (10) Ebintu ebirala ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi biyinza okukozesebwa ne ku baana abato n’abalwadde abayi? (11) Ekimu ku bintu ebikulu abasawo bye basaanidde okujjukira okusobola okuwa abalwadde obujjanjabi obulungi kye kiruwa? (12) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okulonda nga bukyali enzijanjaba ezitazingiramu kuteekebwamu musaayi? Kino tuyinza kukikola tutya?

Kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda atendekeddwa Baibuli okukkiriza obumu ku bujjanjabi obulagibwa mu vidiyo. Omaze okusalawo bujjanjabi bwa ngeri ki obutali bwa kuteekebwamu musaayi ggwe n’abaana bo bwe munakkiriza era n’okujjuzaamu kaadi eyitibwa DPA oba AMD? Okusobola okumanya ebisingawo ku nsonga eno, weekenneenye essuula 7 ey’akatabo “Kwagala kwa Katonda” n’ebijuliziddwa ebiweereddwa mu ssuula eyo. Era laba n’ebyo ebiri mu kapapula ak’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006, wansi w’omutwe “Ntwala Ntya Obutundutundu Obuggiddwa mu Musaayi n’Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi Gwange?” N’ekisembayo, kakasa nti obujjanjabi bw’osazeewo okukozesa obuteeka ku kaadi yo eya DPA bw’oba nga gy’okozesa. Ekyo ky’osazeewo osaanidde okukitegeeza abo b’owadde obuvunaanyizibwa obw’okukujjanjaba awamu n’ab’omu maka go abatali Bajulirwa.

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

• Omaze okusalawo bujjanjabi bwa ngeri ki obutali bwa kuteekebwamu musaayi ggwe n’abaana bo bwe munakkiriza?

• Otambula ne kaadi yo eya DPA oba AMD esobole okukuyamba ng’ofunye obuzibu obw’amangu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share