Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwalianuary 25
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 25
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv sul. 16 ¶1-8
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyabalamuzi 5-7
Na. 1: Ekyabalamuzi 7:1-11
Na. 2: Tusobola Tutya Okutegeera “Malaaya Omukulu” Ayogerwako mu Okubikkulirwa 17:1?
Na. 3: Ddala Kirisoboka Omuntu Yenna Okuva Emagombe [Hell]? (rs-E lup. 170 ¶4–lup. 171 ¶1)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Ekitabo Eky’okugaba mu Febwali. Mu bufunze yogera ku bintu ebirungi ebiri mu katabo akanaagabibwa mu mwezi ogwo. Teekateeka ekyokulabirako ekiraga engeri omubuulizi gy’ayinza okukozesaamu akatabo akagabibwa omwezi ogwo okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli embagirawo.
Ddak. 20: “Tonnagijjuzaamu?” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Kya kukubirizibwa omukadde. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi annyonnyola omusawo we omugaso gwa kaadi eyitibwa DPA oba AMD (Advance Medical Directive) era n’amusaba okugiteeka mu fayiro y’ebiwandiiko bye. Omusawo amusuubiza okukikola. Ng’ofundikira, soma akatundu akasembayo.