Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Kiki buli omu ky’ayinza okukola okukakasa nti abalala tebataataaganyizibwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina? (Ma. 31:12)
Olw’okussa ekitiibwa mu Yakuwa ne mu nteekateeka z’ekibiina z’atuteereddewo, ffenna tukubirizibwa okutuuka nga bukyali era n’okuba abeeteefuteefu asobole okutuyigiriza. Kiba kirungi okutuula mu bifo eby’omu maaso, ebifo eby’emabega ne tubirekera abo abalina abaana abato n’abo ababa batuuse ekikeerezi. Ng’enkuŋŋaana tezinnatandika, abo abalina essimu basaanidde okukakasa nti tezitaataaganya balala. Ebitaataaganya bijja kuba bitono era nga si bya maanyi singa ffenna tufuba okugoberera obulagirizi buno ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso.—Mub. 5:1; Baf. 2:4.
Abapya bwe batandika okujja mu nkuŋŋaana, omubuulizi yenna abamanyi ayinza okutuula nabo. Kino kiba kya muganyulo naddala bwe wabaawo abaana abato abeetaaga okutendekebwa. Amaka gayinza okuba nga gwe mulundi gwago ogusoose okujja mu nkuŋŋaana. Bwe kiba bwe kityo, abazadde bayinza okwagala okutuula emabega awayinza okubanguyira okufulumyako abaana baabwe ebweru nga tebataataaganyizza balala. (Nge. 22:6, 15) Amaka agalina abaana abato tegasaanidde kutuuzibwa mu kisenge kirala abaana gye bayinza okufunira akaagaanya okuzannya n’okuleekaanira abalala. Okutwalira awamu kiba kirungi abazadde bennyini okutwala abaana baabwe ebweru okubakangavvula oba okubawa obuyambi obulala oluvannyuma ne babakomyawo mu kizimbe omuli olukuŋŋaana.
Abo abaaniriza abagenyi bafuba okulaba nti tewabaawo kintu kyonna kitaataaganya bantu mu nkuŋŋaana. Bayamba abo abalina abaana n’abo ababa batuuse ekikeerezi okufuna ebifo ebisaanira aw’okutuula. Abaaniriza abagenyi beegendereza nnyo era bakozesa amagezi nga bayamba abalala okutuula obulungi awatali kuwugula birowoozo by’abala. Bwe wajjawo ebitaataaganya, babigonjoola mu ngeri ey’amagezi. Singa enneeyisa y’omwana ereetera abalala okuwugulibwa, abaaniriza abagenyi bayinza okuyambako ku bazadde.
Buli omu aba azze mu nkuŋŋaana ez’okusinza alina ky’asobola okukola okulaba nti tewabaawo kintu kyonna kitaataaganya abo ababa bazze okuyiga ku Yakuwa n’ekigendererwa kye eri ensi empya ey’emirembe n’obutuukirivu.—Beb. 10:24, 25.