Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 22
WIIKI ETANDIKA MAAKI 22
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Samwiri 10-13
Na. 1: 1 Samwiri 10:17-27
Na. 2: Ddala Okukuza Ssekukkulu Kyesigamiziddwa ku Baibuli? (rs-E lup. 176 ¶1-4)
Na. 3: Ensonga Lwaki Endowooza Egamba nti Ebintu Tebyatondebwa Butondebwa Ekontana n’Obukristaayo
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango. Yogera ne ku kirango kyonna ekyetaagisa ekikwata ku Kijjukizo.
Ddak. 15: Weeteekereteekere Okugaba Magazini ey’Enjawulo eya Watchtower Apuli 1. Mwejjukanye ebyo ebiri mu magazini eno. Saba abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bateekateeka okukozesa nga bagigaba. Lagayo ebyokulabirako bibiri.
Ddak. 15: Yamba Abapya Abanaabaawo ku Mukolo ogw’Ekijjukizo. Kwogera kw’omukadde ng’ajjukiza ababuulizi obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okuyamba abayizi ba Baibuli, ababuulizi abatakyabuulira, era n’abagenyi abalala. (Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, aka Maaki 2008, olupapula 4.) Lagayo ekyokulabirako mu bufunze. Jjukiza bonna okusoma Ebyawandiikibwa ebikwata ku Kijjukizo.