Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 29
WIIKI ETANDIKA MAAKI 29
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Samwiri 14-15
Na. 1: 1 Samwiri 14:24-35
Na. 2: Engeri Gye Tuyinza Okusembereramu Yakuwa (Yak. 4:8)
Na. 3: Abasajja Abagezigezi, Abaakulemberwa Emmunyeenye Okutuuka Awaali Yesu Baali Baani? (rs-E lup. 177 ¶1-3)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 7: Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli. Bategeeze olunaku oluddako olw’okuyigiririzaako abantu Baibuli. Buuza ebibuuzo omubuulizi eyatandika era n’ayigiriza abantu Baibuli. Nnyanjula ki ezisinze okukola obulungi mu kitundu kyammwe? Bintu ki by’alina okulowoozaako ng’ateekateeka okukola okuddiŋŋana? Musabe alage ekyokulabirako ng’akozesa emu ku nnyanjula z’akozesa.
Ddak. 15: Kozesa Bulungi Akatabo 2010 Yearbook. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Mukubaganye ebirowoozo ku “Bbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi.” Nokolayo ebyokulabirako ebimu okuva mu katabo yearbook era onnyonnyole engeri gye biyinza okutuzzaamu amaanyi mu buweereza bwaffe. Saba abawuliriza boogere ku bintu ebikulu ebiri mu alipoota y’ensi yonna. Fundikira ng’okubiriza bonna okusoma akatabo Yearbook bakamaleko.
Ddak. 8: “Beera Muyambi Mulungi Nga Mubuulira Nnyumba ku Nnyumba.” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.