Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 27
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 27
Oluyimba 123 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 5 ¶6-11 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 52-59 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. “Nnyinza Ntya Okubala Ebiseera?” Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Oluvannyuma lw’okwogera okwo, kozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4 okulaga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu mwezi gwa Jjulaayi. Kubiriza bonna okwenyigira mu nteekateeka eno.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Magazini mu Jjulaayi. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebimu ku bitundu mu lukalala lw’ebyo ebiri mu magazini. Oluvannyuma londa ebitundu bibiri oba bisatu, era osabe abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bayinza okukozesa nga bazigaba. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Ddak. 15: Beera Mwegendereza ng’Obuulira. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 197-199. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi addamu ekimu ku bibuuzo ebitera okubuuzibwa abo abatuziyiza naye ng’akikola mu ngeri etali ya bwegendereza. Oluvannyuma laga ekyokulabirako ekirala ng’omubuulizi addamu ekibuuzo kye kimu n’obwegendereza.
Oluyimba 92 n’Okusaba