“Nnyinza Ntya Okubala Ebiseera?”
Wali weebuuzizzaako ekibuuzo ekyo? Obulagirizi obukwata ku nsonga eyo busangibwa mu katabo Organized, olupapula 86-87. Obulagirizi obulala obukwata ku nsonga eyo butera okutuweebwa, gamba ng’obwo obuli mu Kasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2008. Okuva bwe kiri nti embeera zaffe zaawukana, tewali lukalala lwa biragiro lutuweereddwa ku nsonga eno. N’olwekyo tekyandibadde kirungi abakadde oba omuntu omulala yenna okuwa obulagirizi obulala obwawukana ku obwo obutuweereddwa.
Singa wajjawo ekibuuzo naye nga tewali bulagirizi buweereddwa ku nsonga eyo, buli mubuulizi ayinza okwebuuza nti: Ebiseera ebyo byonna nnabikozesezza mu buweereza, oba ebimu ku byo nnabikozesezza mu bintu birala ebitakwatagana na buweereza? Ekyo kye tujjuzza ku lipoota zaffe ez’obuweereza buli mwezi kirina kuba ekyo ekituleetera essanyu so si ekituleetera okulumizibwa omuntu waffe ow’omunda. (Bik. 23:1) Ekisinga obukulu, si y’engeri gye tubalamu ebiseera, wabula y’engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe nga tuba banyiikivu mu buweereza.—Beb. 6:11.