Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 4
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 4
Oluyimba 85 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 5 ¶12-17 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 60-68 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 62:1–63:5 (Ddak. 4, oba obutawera)
Na. 2: Okutuukirizibwa kwa Kaggayi 2:7 Kutukwatako Kutya? (Ddak. 5)
Na. 3: Baani Abajja Okubeera Abafuzi mu Bwakabaka?—rs-E lup. 226 ¶3-5 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango. Yogera ku ebyo Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira.
Ddak. 10: Oleetedde Akamwa k’Abaana Abawere Okukutendereza. (Mat. 21:15, 16) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo 2011 Yearbook, olupapula 53, akatundu 3, n’olupapula 58, akatundu 1-2. Buli kyakulabirako ky’omala okwogerako, saba abawuliriza boogere ebyo bye bayize.
Ddak. 10: Biki bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Lukka 9:57-62 ne Lukka 14:25-33. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri zino gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 10: “Kiki Kye Tusaanidde Okukola nga Tubuulira ku Nguudo?” Kubuuza bibuuzo na Kuddamu. Ekitundu kino kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Ebiri mu kitundu kino bituukaganye n’embeera y’omu kitundu kyammwe. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ng’okozesa amagezi agaweereddwa mu kitundu kino.
Oluyimba 124 n’Okusaba