Yamba Oyo gw’Obuulira Okulowooza
1. Ngeri ki ey’okubuulira esinga okuvaamu ebibala?
1 Ngeri ki ey’okubuulira esinga okuvaamu ebibala mu buweereza—ey’okulaga nti ekikyo kyokka kye kituufu oba ey’okukubaganya n’abantu ebirowoozo? Ye omutume Pawulo yakubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya abaali mu Ssessaloniika, “n’ekyavaamu, abamu ku bo ne bafuuka bakkiriza.” (Bik. 17:2-4) Kiki ekizingirwa mu kukubaganya ebirowoozo n’abalala?
2. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo nga tubuulira amawulire amalungi?
2 Faayo ku Nneewulira y’Omuntu n’Ekyo ky’Akkiririzaamu: Okusobola okuyamba abantu abali mu kitundu kye tubuuliramu okulowooza, kitwetaagisa okufaayo ku nneewulira yaabwe n’ebyo bye bakkiririzaamu. Pawulo bwe yali mu Aleyopaago ng’ayogera n’Abayonaani abataali bakkiriza, yatandikira ku bintu bye baali bamanyi era bye baali bakkiriza. (Bik. 17:22-31) N’olwekyo, bw’oba oteekateeka ennyanjula yo, lowooza ku ebyo abantu abali mu kitundu ky’obuuliramu bye bakkiririzaamu ne bye batakkiririzaamu. (1 Kol. 9:19-22) Oyo gw’obuulira bwatandika okuwakana, gezaako okunoonya ekyo kye mukkiriziganyaako kye muba mwogerako.
3. Okukozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi kiyinza kitya okutuyamba okukubaganya ebirowoozo n’abalala?
3 Kozesa Ebibuuzo mu Ngeri ey’Amagezi: Tetuyinza kulagirira muntu ali ku lugendo n’atuuka gy’agenda okuggyako nga tutegedde w’atuuse. Mu ngeri y’emu, tetuyinza kuyamba muntu gwe tubuulira okutegeera ekituufu okuggyako nga tutegedde ky’alowooza. Bwe yabanga agenda okukubaganya ebirowoozo n’omuntu, Yesu yasookanga kumubuuza bibuuzo okusobola okutegeera endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu bwe yabuuza Yesu nti, “nkole ki okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?,” Yesu yasooka kumanya omusajja oyo kye yali alowooza nga tannamuddamu. (Luk. 10:25-28) Olulala, Peetero bwe yaddamu ekikyamu, Yesu yakozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi okutereeza endowooza ye. (Mat. 17:24-26) N’olwekyo, oyo gwe tubuulira bw’atubuuza ekibuuzo oba bw’ayogera ekitali kituufu, tusobola okukozesa ebibuuzo okumuyamba okulowooza oba okutegeera ekituufu.
4. Lwaki tusaanidde okuyamba oyo gwe tubuulira okulowooza?
4 Bwe tuyamba oyo gwe tubuulira okulowooza, tuba tukoppa Yesu, Omuyigiriza Omukulu, n’ababuulizi abalala abaalina obumanyirivu abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Tuba tuwa oyo gwe tubuulira ekitiibwa. (1 Peet. 3:15) N’ekivaamu ayinza okukkiriza tuddemu tumukyalire.