Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuddamu Abo Abatayagala Kutuwuliriza
Lwaki Kikulu?: Ka tugambe nti wagenda kugwawo akatyabaga mu kitundu kyammwe. Okimanyi bulungi nti singa abantu tebava mu kitundu ekyo bajja kufa. Ogenda okulabula muliranwa wo, naye akugamba nti alina eby’okukola bingi. Oyinza okuvaawo obuvi nga tomulabudde? Abantu bangi mu kitundu kye tubuuliramu tebaagala kutuwuliriza, kyokka tebamanyi nti obubaka bwaffe bwe busobola okubayamba okuwonawo. Oluusi tubasanga nga balina eby’okukola bingi. (Mat. 24:37-39) Ate oluusi bayinza okuba nga batulinako endowooza enkyamu. (Mat. 11:18, 19) Bayinza n’okuba nga balowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa balinga amadiini amalala agenyigira mu bikolwa ebibi. (2 Peet. 2:1, 2) N’olwekyo, omuntu bw’aba tayagala kutuwuliriza, tetusaanidde kuvaawo buvi.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Bwe musanga omuntu n’ayogera mu ngeri eraga nti tayagala kubawuliriza, bwe muvaawo, oyinza okukubaganya ebirowoozo n’oyo gw’oba okoze naye ku ngeri esingayo obulungi gye mwandimuzzeemu.