Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuddamu Omuntu Atukambuwalidde
Lwaki Kikulu: Abantu abasinga obungi be tusanga nga tubuulira tebatukambuwalira. Wadde kiri kityo, Yesu yagamba nti abantu abamu bajja kutukyawa. (Yok. 17:14) N’olwekyo bwe tubuulira omuntu n’atukambuwalira, tekisaanidde kutwewuunyisa. Omuntu ng’oyo tusaanidde okumuddamu mu ngeri eweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa. (Bar. 12:17-21; 1 Peet. 3:15) Bwe tukola tutyo, embeera tejja kweyongera kwonooneka. Ate era kijja kukwata nnyo ku oyo aba atukambuwalidde n’abalala abatulaba, kibaleetere okuwuliriza omulundi omulala nga waliwo ababuulizi abagenzeeyo okubabuulira.—2 Kol. 6:3.
Mu Mwezi Guno Gezaako Bino:
Mwegezeemu mu kusinza kwammwe okw’amaka.
Bwe muva ku nnyumba y’omuntu abakambuwalidde, mukubaganye ebirowoozo n’oyo gw’oba obuulidde naye ku ngeri esingayo obulungi gye wandikuttemu embeera eyo.