Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 10
WIIKI ETANDIKA MAAKI 10
Oluyimba 1 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 4 ¶1-9 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Olubereberye 40-42 (Ddak. 10)
Na. 1: Olubereberye 41:1-16 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Mu Ngeri Ki Abafu Abalala Gye Banaafuukamu Abalamu ku Nsi?—rs-E lup. 338 ¶2–lup. 339 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Kiki Ekinaatuuka ku Abo Abasinza Ebifaananyi?—td 5B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Okusinza kw’Amaka okw’Omuganyulo. Buuza amaka agalina enteekateeka ey’okusinza kw’amaka ebibuuzo bino. Biki bye bayigako mu kusinza kwabwe okw’amaka? Basalawo batya kye banaakubaganyaako ebirowoozo? Biki bye batera okukozesa ebiri ku mukutu jw.org? Enteekateeka yaabwe ey’okusinza kw’amaka ebayambye etya mu buweereza? Kiki kye bakola okukakasa nti ebintu ebirala tebiyingirira nteekateeka yaabwe ey’okusinza kw’amaka? Baganyuddwa batya mu nteekateeka eyo?
Ddak. 15: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuddamu Abo Abatayagala Kutuwuliriza.” Kukubaganya birowoozo. Yogera ku bintu bibiri oba bisatu abantu abamu mu kitundu kye mubuuliramu bye bayinza okwogera olw’okuba tebaagala kutuwuliriza era osabe ababuulizi boogere ku ngeri gye bayinza okuddamu abantu ng’abo. Bajjukize nti mu wiiki etandika nga Apuli 7, bajja kwogera ku birungi ebinaaba bivudde mu kukozesa enkola eno.
Oluyimba 97 n’Okusaba