ESSUULA 4
‘Yakuwa Alina Amaanyi Mangi Nnyo’
1, 2. Bintu ki ebyewuunyisa Eriya bye yali alabye mu bulamu bwe, naye ate bintu ki ebirala ebiwuniikiriza bye yalaba ng’ali ku mulyango gw’empuku ku Lusozi Kolebu?
ERIYA yali alabye ku bintu ebyewuunyisa. Yalaba nnamuŋŋoona nga zimuleetera emmere emirundi ebiri buli lunaku mu kifo gye yali yeekwese. Mu kiseera eky’enjala, yali alabye nti obuwunga obwali mu nsumbi ennene n’amafuta agaali mu kasumbi akatono tebyaggwaawo. Nga bwe yali asabye Katonda, yalaba omuliro nga guva mu ggulu. (1 Bassekabaka, essuula 17, 18) Kyokka bino ebiddirira Eriya yali tabirabangako.
2 Bwe yali okumpi n’omulyango gw’empuku ku Lusozi Kolebu, yalaba ebintu ebiwuniikiriza ebyali biddiriŋŋana. Okusooka waaliwo embuyaga. Eteekwa okuba nga yali ewuuma nnyo era nga ya maanyi nnyo, kubanga yayabuluzaamu ensozi era n’eyasa n’enjazi. Oluvannyuma waddawo musisi eyali ow’amaanyi. Ate olwo ne waddawo omuliro. Bwe gwali gusaasaana mu kitundu, kirabika Eriya yawulira ebbugumu eryali liguvaamu.—1 Bassekabaka 19:8-12.
3. Eriya bye yalaba byayoleka ngeri ki eya Katonda, era engeri eyo tugirabira ku ki?
3 Ebintu bino byonna Eriya bye yalaba byalina ekintu kimu kye bifaanaganya: byonna byayoleka amaanyi ga Yakuwa Katonda ag’ekitalo. Kya lwatu, tekitwetaagisa kusooka kulaba kyamagero okusobola okutegeera nti Katonda alina amaanyi. Amaanyi ge geeyoleka buli wamu. Bayibuli egamba nti ebitonde byoleka ‘amaanyi ga Yakuwa agataggwaawo n’Obwakatonda bwe.’ (Abaruumi 1:20) Lowooza ku kimyanso kya laddu, okubwatuka kw’eggulu, ekiyiriro ky’amazzi ekinene, n’obwengula obunene ennyo era obujjudde emmunyeenye! Mazima ddala ebintu ebyo byoleka amaanyi ga Katonda. Kyokka leero abantu abasinga obungi tebaagala kumanya bikwata ku maanyi ga Katonda, era tebafaayo kumanya ekyo amaanyi ago kye gatuyigiriza ku Katonda. Naye bwe tutegeera obulungi engeri ya Yakuwa eno, kituleetera okwagala okuba n’enkolagana ennungi naye. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya amaanyi ga Yakuwa agatenkanika.
‘Laba! Yakuwa yali ayitawo’
Ngeri ya Yakuwa Enkulu
4, 5. (a) Kiki Bayibuli ky’eyogera ku linnya lya Yakuwa? (b) Lwaki kituukirawo Yakuwa okukozesa ente ennume okukiikirira amaanyi ge?
4 Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi. Yeremiya 10:6 wagamba nti: “Tewali alinga ggwe, Ai Yakuwa. Oli wa kitalo; erinnya lyo kkulu era lya maanyi.” Kyetegereze nti erinnya lya Yakuwa lyogerwako ng’ekkulu era ery’amaanyi. Jjukira nti erinnya lino litegeeza “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Kiki ekisobozesa Yakuwa okutonda ekintu kyonna ky’ayagala era n’okufuuka kyonna ky’ayagala? Ekimu ku byo ge maanyi. Obusobozi Yakuwa bw’alina okubaako ne ky’akola, okutuukiriza by’ayagala, tebuliiko kkomo. Amaanyi ng’ago y’emu ku ngeri ze enkulu.
5 Olw’okuba tetuyinza kutegeerera ddala maanyi ge mu bujjuvu, Yakuwa akozesa ebyokulabirako okutuyamba. Nga bwe twalaba, akozesa ente ennume okukiikirira amaanyi ge. (Ezeekyeri 1:4-10) Ekyo kituukirawo, kubanga ente ennume eba nnene era nga ya maanyi. Abantu abaaliwo mu Palesitayini mu biseera by’edda tebaateranga kulaba, kabekasinge n’obutalabira ddala kintu kyali kigisinga maanyi. Kyokka, baali bamanyi ku kika ky’ente ekimu ekyali eky’entiisa n’okusingawo, naye nga kati kyasaanawo. (Yobu 39:9-12) Julius Caesar, omufuzi w’Obwakabaka bwa Rooma, yagamba nti ente ey’ekika ekyo kumpi yali yenkana enjovu. Yagamba nti yali ‘ya maanyi nnyo era nga ne sipiidi yaayo yali mpitirivu.’ Lowooza ku ngeri gye wandiwuliddemu ng’oyimiridde kumpi n’ekisolo ekyo!
6. Lwaki Yakuwa yekka y’ayitibwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna”?
6 Mu ngeri y’emu, omuntu talina bw’ali era talina maanyi bw’omugeraageranya ku Yakuwa, Katonda ow’amaanyi amangi. Okusinziira ku Yakuwa, n’amawanga ag’amaanyi galinga olufufugge oluli ku minzaani. (Isaaya 40:15) Okwawukana ku bitonde byonna, Yakuwa alina amaanyi agataliiko kkomo, era ye yekka ayitibwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna.”a (Okubikkulirwa 15:3) Yakuwa alina ‘amaanyi mangi nnyo era amaanyi ge gawuniikiriza.’ (Isaaya 40:26) Ye Nsibuko y’amaanyi agatakoma. Talina kintu kyonna kye yeesigamako okusobola okufuna amaanyi, kubanga “ye nnannyini maanyi.” (Zabbuli 62:11) Naye, Katonda akozesa atya amaanyi ge?
Engeri Yakuwa gy’Akozesaamu Amaanyi Ge
7. Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu kye ki, era ebigambo ebyakozesebwa mu nnimi ezaasooka bitegeeza ki?
7 Omwoyo omutukuvu guva eri Yakuwa. Ge maanyi Katonda g’akozesa. Mu butuufu, mu Olubereberye 1:2, (obugambo obuli wansi), Bayibuli egwogerako ‘ng’amaanyi ga Katonda.’ Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebivvuunulwa ‘omwoyo’ oluusi biyinza okuvvuunulwa nga ‘empewo,’ oba ‘omukka ogussibwa.’ Okusinziira ku bawandiisi b’enkuluze abamu, ebigambo ebyakozesebwa mu nnimi ezaasooka bitegeeza amaanyi agatalabika naye nga bye gakola birabika. Okufaananako empewo, omwoyo gwa Katonda tegulabika, naye byo bye gukola bya ddala era birabika.
8. Mu Bayibuli, omwoyo omutukuvu guyitibwa ki, era lwaki ekyo kituukirawo?
8 Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukozesebwa mu ngeri ezitali zimu. Yakuwa ayinza okugukozesa kyonna ky’aba ayagadde. Eyo y’ensonga lwaki mu Bayibuli omwoyo gwa Katonda omutukuvu guyitibwa ‘engalo ye,’ ‘omukono gwe ogw’amaanyi,’ oba ‘omukono gwe ogugoloddwa.’ (Lukka 11:20; Ekyamateeka 5:15; Zabbuli 8:3) Ng’omuntu bw’ayinza okweyambisa emikono gye okukola emirimu egitali gimu egyetaagisa amaanyi n’obusobozi obw’enjawulo, ne Katonda akozesa omwoyo gwe okukola kyonna ky’ayagala. Ng’ekyokulabirako, yagukozesa okukola obuntu obusirikitu, okwawulamu Ennyanja Emmyufu, n’okuyamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okwogera mu nnimi.
9. Obuyinza bwa Yakuwa bwenkana wa?
9 Era Yakuwa akozesa amaanyi ge ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Kiteeberezeemu ng’olina obuyinza ku bukadde n’obukadde bw’ebitonde ebitegeera era nga bikugondera. Yakuwa alina obuyinza ng’obwo. Alina abaweereza be ku nsi, abageraageranyizibwa ku ggye mu Byawandiikibwa. (Zabbuli 68:11; 110:3) Kyokka omuntu kitonde kinafu nnyo bw’omugeraageranya ku bamalayika. Kirowoozeeko, eggye lya Bwasuli bwe lyalumba abantu ba Katonda, malayika omu yatta abasirikale 185,000 mu kiro kimu! (2 Bassekabaka 19:35) Bamalayika ba Katonda ‘ba maanyi nnyo.’—Zabbuli 103:19, 20.
10. (a) Lwaki Omuyinza w’ebintu byonna, ayitibwa Yakuwa ow’eggye? (b) Ani asinga amaanyi mu bitonde bya Yakuwa byonna?
10 Bamalayika bali bameka? Nnabbi Danyeri yayolesebwa ebiri mu ggulu n’alaba ebitonde eby’omwoyo ebisukka mu bukadde 100 nga biri mu maaso g’entebe ya Yakuwa. Naye tewali kiraga nti yalaba bamalayika bonna abali mu ggulu. (Danyeri 7:10) N’olwekyo, omuwendo gwa bamalayika guyinza okuba nga guli mu bukadde nkumi na nkumi. Eyo ye nsonga lwaki Katonda ayitibwa Yakuwa ow’eggye. Ekitiibwa kino kiraga ekifo ky’alina ng’Omuduumizi w’eggye lya bamalayika eddene ennyo era etegeke obulungi. Ataddewo Omwana we gw’ayagala ennyo, “omubereberye w’ebitonde byonna,” okukulira ebitonde bino byonna eby’omwoyo. (Abakkolosaayi 1:15) Olw’okuba Yesu y’akulira bamalayika bonna, omuli basseraafi, bakerubi, ne bamalayika abalala, kye kitonde kya Yakuwa ekisingayo amaanyi.
11, 12. (a) Mu ngeri ki Ekigambo kya Katonda gye kirina amaanyi? (b) Yesu yayogera atya ku maanyi ga Yakuwa?
11 Yakuwa alina engeri endala gy’akozesaamu amaanyi ge. Abebbulaniya 4:12 lugamba nti: ‘Ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi.’ Olabye amaanyi g’Ekigambo kya Katonda, kwe kugamba, obubaka obwaluŋŋamizibwa obuli mu Bayibuli? Obubaka obwo butuzzaamu amaanyi, buzimba okukkiriza kwaffe, era butuyamba okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwaffe. Omutume Pawulo yalabula bakkiriza banne ku bikolwa eby’obugwenyufu. Yagattako nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.” (1 Abakkolinso 6:9-11) ‘Ekigambo kya Katonda’ kyabayamba okukola enkyukakyuka.
12 Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo, era engeri gy’agakozesaamu ya kitalo ne kiba nti tewali kiyinza kumulemesa kukola by’ayagala. Yesu yagamba nti: “Eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” (Matayo 19:26) Yakuwa aba na kigendererwa ki ng’akozesa amaanyi ge?
Katonda aba n’Ekigendererwa bw’Aba Akozesa Amaanyi Ge
13, 14. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa talinga kyuma ekitategeera? (b) Yakuwa akozesa atya amaanyi ge?
13 Omwoyo gwa Yakuwa gusingira wala amaanyi gonna ag’omu butonde; era Yakuwa tali nga kyuma buuma ekikola amasannyalaze. Ye Katonda afaayo era alina obuyinza ku maanyi ge. Kyokka, kiki ekimuleetera okugakozesa?
14 Nga bwe tujja okulaba, Katonda akozesa amaanyi ge okutonda, okuzikiriza, okukuuma, n’okuzza obuggya ebintu, kwe kugamba, agakozesa okukola ekintu kyonna ekituukagana n’ebigendererwa bye. (Isaaya 46:10) Mu mbeera ezimu, Yakuwa akozesa amaanyi ge okumanyisa engeri ze enkulu n’emitindo gye. Okusingira ddala, akozesa amaanyi ge okutuukiriza ekigendererwa kye, kwe kugamba, okutukuza erinnya lye okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya, okusobola okulaga nti obufuzi bwe bwe busingayo okuba obulungi. Tewali kiyinza kumulemesa kutuukiriza kigendererwa ekyo.
15. Lwaki Yakuwa akozesa amaanyi ge ku lw’abaweereza be, era kino kyeyoleka kitya ku bikwata ku Eriya?
15 Era Yakuwa akozesa amaanyi ge okutuyamba kinnoomu. Weetegereze 2 Ebyomumirembe 16:9 kye lugamba: “Amaaso ga Yakuwa gatambulatambula mu nsi yonna okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” Ebyo Eriya bye yalaba ne bye yawulira ebyayogeddwako ku ntandikwa, bye bimu ku byokulabirako ebikakasa ekyo. Lwaki Yakuwa yamulaga amaanyi ge amangi? Nnabakyala Yezebeeri, yali amaliridde okutta Eriya. Nnabbi oyo yali adduse okuwonya obulamu bwe. Yalowooza nti ali yekka, n’atya nnyo, era n’aggwaamu amaanyi, nga gy’obeera nti bye yali akoze byonna byali bya bwereere. Kyokka, Yakuwa yabudaabuda Eriya ng’amulaga amaanyi ge. Embuyaga, musisi n’omuliro byalaga nti Oyo asingayo okuba ow’amaanyi mu butonde bwonna yali n’Eriya. Kati olwo, lwaki Eriya yanditidde Yezebeeri nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ali ku ludda lwe?—1 Bassekabaka 19:1-12.b
16. Lwaki kituzzaamu amaanyi bwe tufumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa?
16 Wadde ng’ekiseera kye tulimu si kya kukola byamagero, Yakuwa takyukanga. (1 Abakkolinso 13:8) Ne mu kiseera kyaffe ayagala nnyo okukozesa amaanyi ge ku lw’abo abamwagala. Kyo kituufu nti abeera wala nnyo mu ggulu, naye tatuli wala. Amaanyi ge tegakoma, n’olwekyo okuba nti abeera mu ggulu, tekimukugira n’akamu. Mu butuufu Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.” (Zabbuli 145:18) Lumu nnabbi Danyeri bwe yakoowoola Yakuwa okumuyamba, malayika yajja gy’ali nga tannaba na kumaliriza kusaba! (Danyeri 9:20-23) Tewali kiyinza kulemesa Yakuwa kuyamba abo b’ayagala n’okubazzaamu amaanyi.—Zabbuli 118:6.
Amaanyi ga Yakuwa Gamufuula Atatuukirikika?
17. Amaanyi ga Yakuwa gatuleetera kumutya mu ngeri ki, naye kutya ki kwe gatatuleetera?
17 Amaanyi ga Katonda gandituleetedde okumutya? Mu ngeri emu tuyinza okugamba nti yee, ate mu ngeri endala nti nedda. Twandimutidde, nga tumuwa ekitiibwa nga bwe kyayogerwako mu bufunze mu ssuula evuddeko. Bayibuli etugamba nti okutya ng’okwo “ye ntandikwa y’amagezi.” (Zabbuli 111:10) Ku luuyi olulala, tetwanditidde Yakuwa kubanga amaanyi ge tegatuleetera ntiisa wadde okutulemesa okumutuukirira.
18. (a) Lwaki abantu abasinga obungi tebeesiga abo abalina obuyinza? (b) Tumanya tutya nti Yakuwa tayinza kwonoonebwa maanyi ge?
18 “Obuyinza bwonoona, ate obuyinza bwe buyitirira bwonoonera ddala,” bw’atyo Omungereza ayitibwa Lord Acton bwe yayogera mu 1887. Ebigambo bye bijuliziddwa enfunda n’enfunda, oboolyawo kubanga abantu bangi balaba nga bituufu. Abantu abatatuukiridde batera okukozesa obubi obuyinza bwabwe, era ng’ebibaddewo mu byafaayo bwe bikiraze enfunda n’enfunda. (Omubuulizi 4:1; 8:9) Olw’ensonga eno, bangi tebeesiga bantu abalina buyinza era babeewala. Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi. Amaanyi ago agakozesezza bubi? N’akatono! Nga bwe twalabye, mutukuvu, era tayinza kwonooneka. Yakuwa talinga bantu abatatuukiridde abalina obuyinza mu nsi eno ennyonoonefu. Takozesangako bubi maanyi ge era talikikola.
19, 20. (a) Yakuwa bw’aba akozesa amaanyi ge, ngeri ki endala zaayoleka, era lwaki kino kizzaamu amaanyi? (b) Oyinza otya okunnyonnyola engeri Yakuwa gye yeefugamu, era lwaki ekyo kikuleetera okumwagala?
19 Kijjukire nti amaanyi si ye ngeri yokka Yakuwa gy’alina. Tugenda kuyiga ne ku bwenkanya bwe, amagezi ge, n’okwagala kwe. Tusaanidde okukijjukira nti engeri za Yakuwa zonna zikwatagana. Mu ssuula eziddako tugenda kulaba nti bulijjo Yakuwa akozesa amaanyi ge mu ngeri ey’obwenkanya, ey’amagezi, era ey’okwagala. Waliwo engeri endala Yakuwa gy’alina etasangika mu bafuzi ab’ensi, nga kuno kwe kwefuga.
20 Teeberezaamu ng’osisinkanye omusajja omuwagguufu ennyo era ow’amaanyi ennyo atiisa. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera okiraba nti mukkakkamu. Buli kiseera aba mwetegefu okukozesa amaanyi ge okuyamba n’okukuuma abantu, naddala abatalina bukuumi. Takozesa bubi maanyi ge. Bamwogerako eby’obulimba naye asigala mukkakkamu, era nga wa kisa. Weebuuza obanga naawe wandyefuze era n’osigala ng’oli mukkakkamu singa walina amaanyi ng’agage! Bwe weeyongera okumanya omusajja oyo, tewandyagadde abeere mukwano gwo? Tulina ensonga nnyingi n’okusingawo ezitwagazisa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, Omuyinza w’Ebintu Byonna. Lowooza ku lunyiriri luno olwesigamiziddwako omutwe gw’essuula eno: “Yakuwa alwawo okusunguwala era alina amaanyi mangi.” (Nakkumu 1:3) Yakuwa tayanguyiriza kukozesa maanyi ge okubonereza abantu, wadde ababi. Muteefu era wa kisa. Yeeraze okuba nti “alwawo okusunguwala” ne bw’aba ng’asoomoozeddwa.—Zabbuli 78:37-41.
21. Lwaki Yakuwa takaka bantu kukola by’ayagala, era ekyo tukiyigirako ki?
21 Lowooza ku ngeri endala Yakuwa gye yeefugamu. Singa walina amaanyi agataliiko kkomo, olowooza emirundi egimu tewandikase abantu okukola by’oyagala? Wadde nga Yakuwa alina amaanyi mangi, takaka bantu kumuweereza. Wadde ng’okuweereza Yakuwa ye ngeri yokka mwe tuyitira okufuna obulamu obutaggwaawo, Yakuwa tatukaka kumuweereza. Wabula awa buli muntu eddembe okwesalirawo. Alabula ku kabi akava mu kusalawo mu ngeri etali ya magezi era n’alaga emiganyulo egiva mu kusalawo mu ngeri ey’amagezi. Naye atuleka ffe ne twesalirawo. (Ekyamateeka 30:19, 20) Yakuwa tayagala kumuweereza olw’okukakibwa oba olw’okumutya olw’amaanyi amangi g’alina. Asanyukira abo abamuweereza olw’okuba bamwagala.—2 Abakkolinso 9:7.
22, 23. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala okuwa abalala amaanyi? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu ssuula eddako?
22 Ka tulabe ensonga esembayo eraga lwaki tetwanditidde Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. Abantu abalina obuyinza tebaagala kugabana buyinza bwabwe na balala. Kyokka Yakuwa ayagala okuwa abaweereza be abeesigwa obuyinza. Awa abalala obuyinza bungi, gamba ng’Omwana we. (Matayo 28:18) Era Yakuwa awa abaweereza be amaanyi oba obuyinza mu ngeri endala. Bayibuli egamba nti: “Ai Yakuwa, oli mukulu, oli wa maanyi, oli mulungi, osukkulumye, era oli wa kitiibwa; kubanga ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi bibyo. . . . Mu mukono gwo mwe muli obuyinza n’amaanyi, era omukono gwo gusobola okuwa abantu obukulu era n’okuwa bonna amaanyi.”—1 Ebyomumirembe 29:11, 12.
23 Mazima ddala Yakuwa ayagala okukuwa amaanyi. Awa abo abaagala okumuweereza “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Abakkolinso 4:7) Owulira ng’oyagala okuba mukwano gwa Katonda ono ow’amaanyi, akozesa amaanyi ge mu ngeri ey’ekisa ng’agoberera emitindo gye egya waggulu? Mu ssuula eddako tujja kulaba engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge okutonda.
a Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna” obutereevu kitegeeza “Afuga Byonna; Oyo Alina Amaanyi Gonna.”
b Bayibuli egamba nti: ‘Yakuwa teyali mu mbuyaga, oba mu musisi wadde mu muliro.’ Okwawukana ku abo abasinza bakatonda ab’obulimba abakwataganyizibwa n’amaanyi ag’omu butonde, abaweereza ba Yakuwa tebamunoonyeza mu maanyi ag’obutonde. Olw’okuba mukulu nnyo era wa maanyi nnyo tasobola kubeera mu kintu kyonna kye yatonda.—1 Bassekabaka 8:27.