Oluyimba 97
Mugende mu Maaso, Abaweereza b’Obwakabaka!
1. Tubuulire abantu bonna
Mu nsi ku Bwakabaka.
Tuyambenga abawombeefu,
Twolese okwagala.
’Nkizo ’kuweereza Katonda;
Tubuulira kigambo kye.
Weeyongere okubuulira;
Manyisanga erinnya lye.
(CHORUS)
Genda ’maaso,
buuliranga wonna Obwakabaka.
Genda ’maaso,
onywerere ku ludda lwa Yakuwa.
2. Ffe ka tweyongere mu maaso.
Kirabo kya bulamu.
Tugoberera Yesu Kristo.
Tuli bamalirivu.
Amawulire amalungi
Buli muntu ageetaaga.
Katonda y’atuwa amaanyi;
Ye nsonga lwaki tetutya!
(CHORUS)
Genda ’maaso,
buuliranga wonna Obwakabaka.
Genda ’maaso,
onywerere ku ludda lwa Yakuwa.
3. Ffenna tweyongera mu maaso,
Wamu n’ensigalira.
Abakadde n’abavubuka
Banywezezza ’mazima.
Obuweereza butukuvu;
Si bwa kulagajjalira.
Tubenga n’empisa ’ntukuvu
Tusiimibwenga Katonda.
(CHORUS)
Genda ’maaso,
buuliranga wonna Obwakabaka.
Genda ’maaso,
onywerere ku ludda lwa Yakuwa.
(Era laba Zab. 23:4; Bik. 4:29, 31; 1 Peet. 2:21.)