Obusente Bubiri obw’Omuwendo Omutono
Emu ku ngeri enkulu ze tuwagiramu emirimu gy’Obwakabaka kwe kuwaayo ssente ezikozesebwa mu mulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Watya singa tuba baavu?
Lumu, Yesu yalaba nnamwandu omwavu ng’ateeka obusente bubiri obw’omuwendo omutono mu kasanduuko akaali mu yeekaalu. Okwagala Yakuwa kwamukubiriza okuwaayo ‘mu bwetaavu bwe, byonna bye yalina, obulamu bwe bwonna.’ (Mak. 12:41-44) Nnamwandu oyo kye yakola Yesu yakyogerako ng’alaga nti obusente obwo bw’ali bwa muwendo mungi mu maaso ga Katonda. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebaakitwalanga nti okuwaayo ssente ez’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka yali nkizo ya Bakristaayo abagagga bokka. Omutume Pawulo yayogera ku kyokulabirako ekirungi eky’Abakristaayo ab’e Makedoni. Yagamba nti: ‘Wadde nga baali baavu nnyo, baatusaba era ne batwegayirira nnyo tubawe akakisa bawe abatukuvu ekirabo.’—2 Kol. 8:1-4.
N’olwekyo, ne bwe kiba nti ‘obusente bubiri bwokka obw’omuwendo omutono’ bwe tusobola okuwaayo, tusaanidde okukijjukira nti obusente obwo obutono bwe bugattibwa awamu n’obwo abalala bwe baba bawaddeyo buvaamu ssente nnyingi. Bwe tuwaayo n’omutima gwaffe gwonna, kijja kusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu omugabi, kubanga “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”—2 Kol. 9:7.