LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/12 lup. 5
  • Okwejjukanya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 10/12 lup. 5

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 29, 2012. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero lya buli wiiki.

1. Ekyoto Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa kikiikirira ki? (Ez. 43:13-20) [Seb. 10, w07 8/1 lup. 22 kat. 3]

2. Amazzi g’omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa gakiikirira ki? (Ez. 47:1-5) [Seb. 17, w07 8/1 lup. 22 kat. 7]

3. Ebigambo “n’ateesa [“n’amalirira,” NW] mu mutima gwe” biraga bitya nti Danyeri yayigirizibwa ebikwata ku Katonda ng’akyali muto? (Dan. 1:8) [Seb. 24, dp lup. 33-34 kat. 7-9; lup. 36 kat. 16]

4. Omuti omunene Nebukadduneeza gwe yalaba mu kirooto gwali gukiikirira ki? (Dan. 4:10, 11, 20-22) [Okit. 1, w07 9/1 lup. 10 kat. 5]

5. Ebyo ebiri mu Danyeri 9:17-19 bituyigiriza ki ku bikwata ku kusaba? [Okit. 8, w07 9/1 lup. 12 kat. 5-6]

6. Ndagaano ki Yakuwa gye ‘yalagaana n’abangi’ eyasigala ng’ekyakola okutuuka ku nkomerero ya ssabbiiti 70 ez’emyaka, oba okutuuka mu mwaka gwa 36 E.E.? (Dan. 9:27) [Okit. 8, w07 9/1 lup. 12 kat. 4]

7. Ekyo malayika kye yagamba Danyeri nti “omulangira ow’obwakabaka obw’e Buperusi” yamuziyiza, kiraga ki? (Dan. 10:13) [Okit. 15, w11-E 9/1 lup. 8 kat. 2-3]

8. Bunnabbi ki obukwata ku Masiya obwatuukirizibwa obulina akakwate n’ebyo ebiri mu Danyeri 11:20? [Okit. 15, dp lup. 232-233 kat. 5-6]

9. Okusinziira ku Koseya 4:11, kabi ki akali mu kunywa ennyo omwenge? [Okit. 22, w10 7/1 lup. 4-5]

10. Kya kuyiga ki ekiri mu Koseya 6:6? [Okit. 22, w07 10/1 lup. 16 kat. 8; w05 12/1 lup. 14 kat. 11-12]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share