Engeri y’Okuganyulwa mu Kibinja Kyo eky’Obuweereza
1. Miganyulo ki gye twafunanga mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina gye tufuna okuyitira mu bibinja byaffe eby’obuweereza?
1 Waliwo by’osubwa ebyabanga mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina? Twabanga mu bubinja butonotono, era kyabanga kyangu nnyo okufuna emikwano egyatuzangamu amaanyi mu by’omwoyo. (Nge. 18:24) Eyakubirizanga Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina yasobolanga okumanya obulungi abali mu kibinja kye, n’abazzaamu amaanyi kinnoomu. (Nge. 27:23; 1 Peet. 5:2, 3) Ebyo byonna tukyasobola okubifuna okuyitira mu bibinja byaffe eby’obuweereza.
2. Kiki kye tuyinza okukola okufuna emikwano mu kibinja kyaffe eky’obuweereza egiyinza okutuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo?
2 Baako ky’Okolawo: Ebibinja by’obuweereza okutwalira awamu byenkana n’ebibinja mwe twasomeranga ekitabo. Bwe tukolera awamu n’abalala mu buweereza, basobola okufuuka mikwano gyaffe egy’oku lusegere. (Baf. 1:27) Bameka be waakabuulirako nabo mu kibinja kyo eky’obuweereza? Fuba okubuulirako na buli mubuulizi ali mu kibinja kyo? (2 Kol. 6:13) Ate era, emirundi egimu tuyinza okuyita omu ku babuulizi abali mu kibinja kyaffe n’atwegattako mu Kusinza kw’Amaka, oba ne tuliirako wamu naye. Mu bibiina ebimu, ebibinja by’obuweereza biba n’enteekateeka ey’okusembeza omwogezi aba akyalidde ekibiina kyabwe. Ab’oluganda mu kibinja ekinaasembeza omwogezi, bakuŋŋaana okuliirako awamu n’okuziŋŋanamu amaanyi, ka kibe nti omwogezi tasobodde kubeerawo.
3. Tuzzibwamu tutya amaanyi mu bibinja byaffe eby’obuweereza?
3 Wadde nga kati tukuŋŋaana emirundi ebiri gyokka mu wiiki, tekitegeeza nti ababuulizi tebafiibwako nnyo. Abalabirizi b’ebibinja by’obuweereza balondebwa, basobole okuzzaamu ababuulizi kinnoomu amaanyi n’okubatendeka mu mulimu gw’okubuulira. Bwe kiba nti omulabirizi w’ekibinja kyo tannaba kukola nteekateeka ya kubuulirako naawe, oyinza okumusaba obuulireko naye. Ate era, omulabirizi w’obuweereza afunayo wiikendi emu buli mwezi n’akyalira ekibinja eky’enjawulo n’abuulirako n’ababuulizi mu kibinja ekyo. Mu bibiina omuli ebibinja by’obuweereza ebitono, ayinza okukola enteekateeka ey’okukyalira buli kibinja emirundi ebiri mu mwaka. Ofuba okubaawo ng’omulabirizi w’obuweereza akyalidde ekibinja kyo?
4. (a) Enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira ziyinza kutegekebwa zitya? (b) Lwaki twandirowoozezza ku ky’okuba n’olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira mu maka gaffe?
4 Kiba kirungi singa ku wiikendi buli kibinja kikuŋŋaana kyokka okugenda okubuulira. Buli kibinja bwe kiba n’ekifo eky’enjawulo kye kikuŋŋaaniramu, kyanguyira ababuulizi okutuuka mu kifo ekyo, ne mu kitundu kye bagenda okubuuliramu. Kiba kyangu okugabanyamu ababuulizi era bagenderawo mu kitundu kye bagenda okubuuliramu. Ate era kyanguyira omulabirizi w’ekibinja okufaayo ku buli mubuulizi ali mu kibinja kye. Kyokka, oluusi kiyinza okwetaagisa ebibinja bibiri oba okusingawo okukuŋŋaanira awamu. Bwe kiba nti ebibinja byonna bikuŋŋaanira wamu okugenda okubuulira ku Lwomukaaga olusooka mu mwezi, oba oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi, kiba kirungi buli kibinja ne kituula kyokka, abalabirizi b’ebibinja ne baweebwayo eddakiika ntonotono okugabanyamu ababuulizi abali mu bibinja byabwe ng’olukuŋŋaana lw’obuweereza terunnafundikirwa na kusaba.—Laba ebiri mu kasanduuko “Ab’Oluganda Basobola Okukuŋŋaanira mu Maka Go?”
5. Wadde ng’Olukuŋŋaaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina terukyaliwo, tuli bakakafu ku ki?
5 Wadde ng’Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina terukyaliwo, Yakuwa akyeyongera okutuwa byonna bwe twetaaga tusobole okukola by’ayagala. (Beb. 13:20, 21) Olw’okuba Yakuwa atulabirira, tetulina kye tujula. (Zab. 23:1) Tufuna emiganyulo mingi okuyitira mu bibinja byaffe eby’obuweereza. Bwe tubaako kye tukolawo era ne ‘tusiga ensigo nnyingi, tulikungula bingi.’—2 Kol. 9:6.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
Ab’Oluganda Basobola Okukuŋŋaanira mu Maka Go?
Ebibiina ebimu bigatta wamu ebibinja byabyo eby’obuweereza kubanga tewaliiwo maka gamala we basobola kukuŋŋaanira. Enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira eba nteekateeka ya kibiina, n’olwekyo bwe ziba mu maka gaffe, eba nkizo ya maanyi. Ab’oluganda basobola okukuŋŋaanira mu amaka go? Totya ng’olowooza nti amaka go tegasaanira. Abakadde bajja kulowooza ku kifo amaka go we gali n’ensonga endala ezaalowoozebwangako nga balonda ekifo awaabeeranga Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Bw’oba nga wandyagadde ab’oluganda bakuŋŋaanire mu maka go, tegeeza omulabirizi w’ekibinja kyo.