Amagezi Ga Mirundi Etaano Agayinza Okutuyamba Okufuna Omuyizi wa Bayibuli
1. Bwe tuba tuzibuwalirwa okufuna abantu ab’okuyigiriza Bayibuli, kiki kye tusaanidde okukola, era lwaki?
1 Kikuzibuwalira okufuna abantu ab’okuyigiriza Bayibuli? Weeyongere okubanoonya. Yakuwa awa omukisa abo bonna abafuba okukola by’ayagala awatali kulekulira. (Bag. 6:9) Ka twetegereze amagezi ga mirundi etaano agasobola okutuyamba.
2. Kiki kye tuyinza okukola okufuna ab’okuyigiriza Bayibuli?
2 Mubuuze Obanga Yandyagadde Okuyigirizibwa Bayibuli: Abantu bangi bamanyi nti tugaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, naye bayinza okuba nga tebamanyi nti tuyigiriza abantu Bayibuli. Bw’oba obuulira nnyumba ku nnyumba, buuza omuntu obanga yandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli. Ate era oyinza okubuuza omuntu gw’otera okuwa ebitabo byaffe obanga yandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli. Bw’aba tayagala, oyinza okwongera okumuwa ebitabo byaffe n’okumuyamba okwongera okusiima obubaka bwaffe. Ow’oluganda omu yamala emyaka mingi ng’atwalira omwami omu ne mukyala we magazini zaffe. Lumu bwe yali abatwalidde magazini empya, yababuuza obanga bandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli. Kyamwewuunyisa nnyo bwe bakkiriza. Era kati babatize.
3. Twandirowoozezza nti buli ajja mu nkuŋŋaana alina amuyigiriza Bayibuli? Nnyonnyola.
3 Abajja mu Nkuŋŋaana: Tetusaanidde kulowooza nti buli ajja mu nkuŋŋaana zaffe aba alina amuyigiriza Bayibuli. Ow’oluganda omu agamba nti: “Ekinnyambye okufuna abayizi abasinga obungi kwe kubuuza abo abajja mu nkuŋŋaana obanga balina ababayigiriza Bayibuli.” Mwannyinaffe omu yasalawo okutuukirira omukyala omu ow’ensonyi alina abawala ababatize abaali mu kibiina kye. Omukyala oyo yali amaze emyaka nga 15 ng’ajja mu nkuŋŋaana era nga bulijjo atuuka enkuŋŋaana zaakatandika era n’agenda amangu ddala nga zaakaggwa. Omukyala yakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli era oluvannyuma yabatizibwa. Mwannyinaffe agamba nti: “Nnakola bubi okumala emyaka 15 gyonna nga ssimubuuzanga obanga yandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli!”
4. Ngeri ki endala gy’oyinza okufunamu ab’okuyigiriza Bayibuli?
4 Buuza Abayizi oba Ababuulizi Abalala: Mwannyinaffe omu afuba okuwerekerako abalala ku bayizi baabwe aba Bayibuli. Bwe bamaliriza, abuuza nnannyini muyizi obanga omuyizi we alina abantu b’amanyi abandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli. Bw’oba owa omuntu akatabo Baibuli ky’Eyigiriza oyinza okumubuuza obanga waliwo omuntu yenna gw’amanyi eyandyagadde okufuna akatabo ako. Oluusi, ababuulizi abamu oba bapayoniya bayinza obutasobola kuyigiriza abantu abamu ababa basiimye obubaka bwaffe. N’olwekyo, tegeeza abalala nti wandyagadde okufuna ab’okuyigiriza Bayibuli.
5. Lwaki tusaanidde okubuuza omu ku bafumbo atali mukkiriza obanga yandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli?
5 Omu ku Bafumbo Atali Mukkiriza: Mu kibiina kyo mulimu omubuulizi yenna alina munne mu bufumbo atali mukkiriza? Abantu abamu abatali bakkiriza tebaagala bannaabwe mu bufumbo kubabuulira bikwata ku Bayibuli, naye bayinza okukkiriza omuntu omulala okubayigiriza Bayibuli. Kiba kirungi okubuuza muganda waffe oba mwannyinaffe osobole okumanya engeri ennungi ey’okutuukiriramu munne atali mukkiriza.
6. Lwaki kikulu nnyo okusaba, bw’oba onoonya omuntu ow’okuyigiriza Bayibuli?
6 Okusaba: Kikulu nnyo okusaba. (Yak. 5:16) Yakuwa atusuubiza okuddamu essaala zaffe, bwe ziba zituukagana n’ebyo by’ayagala. (1 Yok. 5:14) Ow’oluganda omu eyalina eby’okukola ebingi yasaba Yakuwa amuyambe okufuna omuntu ow’okuyigiriza Bayibuli. Ekyo kyaleetera mukyala we okwebuuza obanga omwami we yandifunye ebiseera ebimala okuyigiriza omuntu Bayibuli, naddala singa omuyizi aba n’ebizibu bingi. N’olwekyo, bwe yali asaba Yakuwa okuyamba omwami we okufuna ow’okuyigiriza Bayibuli, yamutegeeza n’ensonga eyo. Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, Yakuwa yaddamu essaala zaabwe, payoniya omu mu kibiina kyabwe bwe yafuna omusajja ayagala okuyigirizibwa Bayibuli n’amuwa ow’oluganda oyo amuyigirize. Mukyala we agamba nti, “Oyo yenna awulira nti kiyinza okumuzibuwalira okufuna omuntu ow’okuyigiriza Bayibuli, asaanidde okutegeeza Yakuwa ku nsonga eyo yennyini n’obutalekera awo kusaba. Mu butuufu, tufunye essanyu lingi nnyo.” Bw’onyiikira okusaba, naawe osobola okufuna omuntu ow’okuyigiriza Bayibuli era n’ofuna n’essanyu eriva mu kuyamba omuntu okutambulira mu ‘kkubo eridda mu bulamu.’—Mat. 7:13, 14.