Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 5
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 5
Oluyimba 39 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 19 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yoweeri 1-3 (Ddak. 10)
Na. 1: Yoweeri 2:17-27 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omusingi Oguli mu Engero 22:3 Guyinza Kutuyamba Gutya? (Ddak. 5)
Na. 3: Tukiraga Tutya nti Ekibiina kya Yakuwa Tukissaamu Ekitiibwa?—rs-E lup. 284 ¶3-7 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Abakazi Abalangirira Amawulire Amalungi Ggye Ddene. (Zab. 68:11, NW) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2012, olupapula 117, akatundu 2, okutuuka ku lupapula 118, akatundu 2; n’olupapula 130, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 131, akatundu 2. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Noovemba. Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa obutikitiki 30 oba 60, wa ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, buuza ab’oluganda bibuuzo ki na byawandiikibwa ki bye muyinza okukozesa nga mugaba magazini eyo. Kola kye kimu ne ku Awake! Obudde bwe bubaawo, funayo ekitundu ekirala kimu okuva mu Watchtower oba Awake! okole kye kimu. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi.
Oluyimba 105 n’Okusaba