Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Okitobba: Watchtower ne Awake! Bwe muba muzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, musobola okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Musobola n’okubawa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Noovemba ne Ddesemba: Ababuulizi bayinza okugaba emu ku tulakiti zino wammanga: Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?, Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?, Olina Omwoyo Ogutafa?, Yakuwa y’Ani?, Ensi Eno Eneewonawo?, Obulamu mu Nsi Empya ey’Emirembe, ne Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma! Bwe basiima obubaka bwaffe, mubalage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, oba brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Jjanwali: Mugabe brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula 32: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Lasting Peace and Happiness—How to Find them, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, ne The Divine Name That Will Endure Forever. Bwe muba muzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, musobola okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Musobola n’okubawa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli.