Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Noovemba
“Abasinga obungi ku ffe twagala okufugibwa gavumenti ennungi. Ggwe olowooza gavumenti ya ngeri ki esobola okugonjoola ebizibu by’abantu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’egamba.” Mukwase Watchtower eya Noovemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa. Muwe magazini zombi, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako. Bwe muba temulina magazini za Noovemba, kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe. Kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalimu ennyanjula za magazini ezo.
The Watchtower Noovemba 1
“Twandyagadde okufuna endowooza yo. Singa obadde osobola okubuuza Katonda, kibuuzo ki kye wandimubuuzizza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yalaga nti kirungi okunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo bye tuba twebuuza. [Soma Matayo 7:7.] Magazini eno eraga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo bino ebisatu ebikulu.” Mulage ebibuuzo ebiri ku nkomerero y’olupapula 3.
Awake! Noovemba
“Tulina obubaka obukulu obukwata ku maka bwe tubaleetedde. Leero waliwo amaka mangi omuli omuzadde omu. Olowooza amaka ng’ago galimu ebizibu bingi okusinga ago omuli abazadde bombi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abazadde bangi bafunye amagezi amalungi okuva mu Bayibuli. [Soma 2 Timoseewo 3:16.] Magazini eno erimu amagezi agasobola okuyamba amaka omuli omuzadde omu.”