Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 29
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 29
Oluyimba 2 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 18 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Koseya 8-14 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: “Engeri y’Okuganyulwa mu Kibinja Kyo eky’Obuweereza.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku kasanduuko akali ku lupapula 6, mu bufunze, buuza ebibuuzo ow’oluganda alina amaka omubeera olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Buli wiiki biki by’akola okwetegekera olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira olubeera mu maka ge? Lwaki akitwala nti nkizo okubeera n’enkuŋŋaana zino mu maka ge?
Ddak. 15: “Amagezi Ga Mirundi Etaano Agayinza Okutuyamba Okufuna Omuyizi wa Bayibuli.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku katundu 6, saba abo abalina abayizi ba Bayibuli abakulaakulana, boogere ku ssanyu lye bafuna.
Oluyimba 122 n’Okusaba