Oluyimba 122
Bukumi bw’Ab’Oluganda
Printed Edition
1. Bukumi bw’ab’oluganda,
Balabibwa bonna,
Bajulirwa banywevu,
Ate nga beesigwa.
Bukumi na bukumi,
Ng’ate beeyongera,
Mu mawanga gonna ’g’omu nsi,
Tutenda Katonda.
2. Bukumi bw’ab’oluganda,
Tubuulira wonna
Mawulire ’malungi
Agayaayaanirwa.
Tubuulira n’essanyu,
Wadde nga tukooye,
Yesu atuzzaamu amaanyi;
Tuba n’emirembe.
3. Bukumi bw’ab’oluganda,
Katonda ’tukuuma,
’Era ’tulabirira
Nga tumuweereza.
Bukumi na bukumi,
Tubunyisa ’njiri.
Katonda tukola naye nga
Tuweereza ku nsi.
(Era laba Is. 52:7; Mat. 11:29; Kub. 7:15.)