Abavubuka Babuuza—Nnyinza Ntya Okufuna Emikwano Emirungi?
Yakuwa yatonda abantu nga basobola okukolagana obulungi n’okukola emikwano. (Nge. 17:17; 18:1, 24) Bwe tuba ab’okuganyulwa, kitwetaagisa okulonda n’obwegendereza abo be twagala okufuula mikwano gyaffe. (Nge. 13:20) Ng’omaze okulaba vidiyo Young People Ask—How Can I Make Real Friends?, osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga?
Ennyanjula:
(1) Mukwano gwo owa nnamaddala omutegeerera ku ki?
Ebiyinza Okutulemesa Okufuna Emikwano:
(2) Kiki ky’oyinza okukola singa oba tolina mikwano? (Baf. 2:4) (3) Lwali kikulu okukulaakulanya engeri ennungi, era ani ayinza okutuyamba okuzikulaakulanya? (2 Kol. 13:11) (4) Kiki ekinaatusobozesa okufuna emikwano emirala?—2 Kol. 6:13.
Okuba Mukwano gwa Katonda:
(5) Tuyinza tutya okufuula Yakuwa mukwano gwaffe ow’oku lusegere, era tuganyulwa tutya? (Zab. 34:8) (6) Bwe tufuula Yakuwa mukwano gwaffe ow’oku lusegere, bantu ba ngeri ki abafuuka mikwano gyaffe?
Emikwano Emibi:
(7) Emikwano emibi gye giruwa? (1 Kol. 15:33) (8) Emikwano emibi giyinza gitya okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa?
Omuzannyo Ogulaga Embeera Eyinza Okubaawo Leero:
(9) Ebyo bye tusoma mu Bayibuli ebikwata ku Dina bituyigiriza ki? (Lub. 34:1, 2, 7, 19) (10) Tara yeekwasa nsonga ki okukolagana n’abavubuka abaatali bakkiriza? (11) Mikwano gya Tara egy’oku ssomero gyali gigenda kumuleetera bizibu ki? (12) Lwaki bazadde ba Tara tebaamanya mbeera nzibu muwala waabwe gye yalimu, naye baalina ndowooza ki nga bamuyamba mu by’omwoyo? (13) Payoniya yalaga atya nti yali mukwano gwa Tara owa nnamaddala? (14) Kiki Tara kye yayiga?
Okufundikira:
(15) Biki by’oyize mu vidiyo eno? (16) Oyinza kugikozesa otya okuyamba abalala?
Ka tufube okulonda emikwano eginaatuyamba okusigala nga tuli mikwano gya Katonda egy’oku lusegere!—Zab. 15:1, 4; Is. 41:8.