Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 24
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 24
Oluyimba 32 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 26 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zekkaliya 9-14 (Ddak. 10)
Na. 1: Zekkaliya 11:1-13 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ssaala z’Ani Katonda z’Awulira?—rs-E lup. 292 ¶1–lup. 293 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Mbeera Ki Eziyinza Okutwetaagisa Okukolera ku Magezi Agali mu Engero 15:1? (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 30: Engeri gye Tuyinza Okukozesaamu Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti. Kukubaganya birowoozo ku ebyo ebiri ku lupapula 3-6. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri ku lupapula 4, laga ekyokulabirako kya ddakiika ssatu ng’amaka gafundikira Okusinza kw’Amaka. Ssemaka abuuza ab’omu maka ge kye bandyagadde okuyigako wiiki ejja, era abaana bamugamba nti bandyagadde okuyiga ku ebyo ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Abavubuka” ekiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye bakozesezzaamu omukutu www.pr418.com, oba ku ngeri gye bateekateeka okugukozesa nga beesomesa kinnoomu oba ng’amaka. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri ku lupapula 5, laga ekyokulabirako kya ddakiika ssatu ng’omubuulizi akozesa akasimu ak’omu ngalo akaliko Intaneeti okuddamu omuntu amubuuzizza ebikwata ku nzikiriza zaffe. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri ku lupapula 6, laga ekyokulabirako kya ddakiika nnya ng’omubuulizi ayogera n’omuntu ayagala okusoma mu lulimi lwe. Omubuulizi akozesa akasimu ke ak’omu ngalo oba kompyuta y’omuntu oyo, n’amulaga ebimu ku ebyo ebiri mu tulakiti Okumanya Amazima oba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza mu lulimi olwo, era bakubaganya naye ebirowoozo. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye bakozesezzaamu omukutu jw.org mu buweereza.
Oluyimba 101 n’Okusaba