Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 17
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 17
Oluyimba 35 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 25 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zekkaliya 1-8 (Ddak. 10)
Na. 1: Zekkaliya 8:1-13 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Engeri gye Tulagamu nti Yakuwa Ye Mukama Waffe ow’Oku Ntikko—Zab. 73:28 (Ddak. 5)
Na. 3: Lwaki Kiba kya Magezi Okuyiga Enjigiriza za Yesu Kristo mu Kifo ky’Obufirosoofo bw’Abantu?—rs-E lup. 290 ¶3–lup. 291 ¶3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: “Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu . . .” Kukubaganya birowoozo.
Ddak. 10: Obubaka Bwe Tulina Okubuulira—‘Mutye Katonda ow’Amazima era Mukwate Ebiragiro Bye.’ Kwogera okw’ebbugumu nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 272 okutuuka ku mutwe omutono oguli ku lupapula 275.
Ddak. 15: Ogezezzaako Okukozesa Amagezi Gano? Kukubaganya birowoozo. Ng’olinga awa emboozi, mu bufunze yogera ku bitundu bino ebyafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka gye buvuddeko: “Buulira n’Obuvumu mu Bifo Omukolerwa Bizineesi” (km 3/12), “Yamba Abantu Okuwuliriza Katonda” (km 7/12), ne “Osobola Okubuulira mu Biseera eby’Akawungeezi?” (km 10/12). Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu kukozesa amagezi agali mu bitundu ebyo.
Oluyimba 117 n’Okusaba