‘Mutabaganenga n’Abantu Bonna’
1. Gwe tuba tubuulira bw’atukambuwalira, kubuulirira ki okuli mu Bayibuli kwe tusaanidde okukolerako?
1 Abantu ba Yakuwa baagala nnyo emirembe era obubaka bwe tubuulira bwa mirembe. (Is. 52:7) Kyokka, bwe tuba tugenze okubuulira oluusi tusanga abantu abatukambuwalira. Kiki ekinaatuyamba okukuuma emirembe mu mbeera ng’eyo?—Bar. 12:18.
2. Lwaki kikulu okutegeera embeera omuntu gy’alimu?
2 Tegeera Embeera gy’Alimu: Wadde ng’abamu bakambuwala olw’okuba tebaagala mazima, abalala bayinza okuba n’ensonga endala ezibaleetera okukambuwala. Oboolyawo tuyinza okuba nga tugenze mu maka gaabwe mu kiseera ekikyamu. Oyo gwe tuba tubuulira ayinza okutukambuwalira olw’okuba alina ebizibu. Ne bwe kiba nti atukambuwalidde olw’obubaka bwe tuba tumubuulidde, tusaanidde okukijjukira nti ayinza okuba nga yabuzaabuzibwa. (2 Kol. 4:4) Bwe tutegeera embeera gy’alimu tujja kusigala nga tuli bakkakkamu, era tetujja kukitwala nti ffe b’atayagala.—Nge. 19:11.
3. Tuyinza tutya okulaga nti oyo gwe tuba tubuulira tumuwa ekitiibwa?
3 Muwe Ekitiibwa: Abantu bangi be tubuulira balina enzikiriza ezaasimba amakanda mu mitima gyabwe. (2 Kol. 10:4) Ba ddembe okutuwuliriza oba obutatuwuliriza. Si kirungi kwogera mu ngeri efeebya enzikiriza y’omuntu oba okumulaga nti tumusinga okumanya Bayibuli. Bw’atugamba okumuviira, tusaanidde okukikola.
4. Okwogera mu ngeri ey’ekisa kitegeeza ki?
4 Yogera mu Ngeri ey’Ekisa: Oyo gwe tuba tubuulira ne bw’atuvuma, tusaanidde okuba abakkakkamu n’okwogera mu ngeri ey’ekisa. (Bak. 4:6; 1 Peet. 2:23) Mu kifo ky’okuwakana naye, gezaako okwogera ku nsonga mwembi gye mukkiriziganyaako. Oboolyawo oyinza okumubuuza ensonga lwaki agaanye obubaka bwaffe. Kyokka, oluusi kiba kirungi okusirika n’omuviira oleme kwongera kumunyiiza.—Nge. 9:7; 17:14.
5. Miganyulo ki egiva mu kukuuma emirembe nga tuli mu buweereza?
5 Bwe tukuuma emirembe, oyo gwe tuba tubuulira olulala ayinza okuwuliriza ng’omubuulizi omulala amuwa obujulirwa. (Bar. 12:20, 21) Ne bw’aba muwakanyi nnyo, ekiseera kiyinza okutuuka n’afuuka muganda waffe. (Bag. 1:13, 14) Omuntu ne bw’atakkiriza mazima, bwe tusigala nga tuli bakkakkamu era ne tukuuma emirembe, tuweesa Yakuwa ekitiibwa era tulungiya okuyigiriza kwaffe.—2 Kol. 6:3.