Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 31, 2012. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero buli wiiki.
1. Obunnabbi obuli mu Yoweeri 2:1-10, 28 obukwata ku bulumbaganyi bw’ebiwuka butuukiridde butya? [Nov. 5, w07 11/1 lup. 5 kat. 1]
2. Ebiri mu Amosi 8:11 bituukirizibwa ku baani leero, era kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza okuva bwe kiri nti tufuna emmere ey’eby’omwoyo mu bungi? [Nov. 12, jd-E lup. 60-61 kat. 9]
3. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Abeedomu okuba n’amalala, era kiki kye tutasaanidde kwerabira? (Ob. 3, 4) [Nov. 19, w07 11/1 lup. 8 kat. 6]
4. Mu ngeri ki Yakuwa gye yejjusa olw’omusango gwe yali asalidde abantu b’omu Nineeve? (Yon. 3:8, 10) [Nov. 19, w07 11/1 lup. 10 kat. 2]
5. Okutambulira mu linnya lya Katonda kinyweza kitya enkolagana yaffe naye? (Mi. 4:5) [Nov. 26, jd-E lup. 88 kat. 12]
6. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Nakkumu 2:6-10 kutukakasa ki? [Des. 3, w07 12/1 lup. 9 kat. 2; w88-E 2/15 lup. 28 kat. 7]
7. Ebiri mu Kaggayi 1:6 birina makulu ki, era kiki kye tuyigamu? [Des. 10, w06 5/1 lup. 10-11 kat. 12-15]
8. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okutuweebwa mu Zekkaliya 7:10, obutaba na ndowooza mbi ku bantu bannaffe? [Des. 17, jd-E lup. 113 kat. 6; w07 12/1 lup. 19 kat. 3]
9. Lwaki ebigambo ebiri mu Zekkaliya 4:6, 7 bibudaabuda abaweereza ba Yakuwa leero? [Des. 17, w07 12/1 lup. 19 kat. 1]
10. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Malaki 3:16, lwaki tetwandiddiridde mu kukuuma obugolokofu bwaffe eri Katonda? [Des. 31, w07-E 12/15 lup. 29 kat. 3]