LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/13 lup. 8
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Similar Material
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Akabi Akali mu Kulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Munno mu Bufumbo bw’Aba ng’Alaba Ebifaananyi eby’Obuseegu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 7/13 lup. 8

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Agusito

“Kumpi buli muntu asaba. N’abantu abatakkiriza nti Katonda gyali bwe bafuna ebizibu oluusi basaba. Olowooza Katonda awulira essaala zonna?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.

Mwetegereze: Nga Agusito 3, musaanidde okulaga ekyokulabirako mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira nga mukozesa ennyanjula eyo.

Omunaala gw’Omukuumi Agusito 1

“Tubakyaliddeko nga twogera ku kintu ekicaase era ekyeraliikiriza abantu, nga bye bifaananyi eby’obuseegu. Kyokka abamu balowooza nti si kibi okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yagamba nti okumanya ebiva mu kukola ekintu kisobola okutuyamba okumanya obanga kirungi oba kibi. [Soma Matayo 7:17.] Akatabo kano koogera ku ebyo ebiva mu kulaba ebifaananyi eby’obuseegu, era kalimu amagezi agasobola okuyamba omuntu okwekutula ku muze ogwo.”

Awake! Agusito

“Abasinga obungi ku ffe twagala tube balamu emirembe gyonna. Olowooza waliwo ekintu kyonna bannasayansi kye basobola okukola ekiyinza okutusobozesa okuba abalamu emirembe gyonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kino ekirungi ennyo. [Soma 1 Abakkolinso 15:26.] Naye ekyo Katonda anaakikola atya, okuyitira mu bannasayansi oba mu ngeri endala? Era lwaki tukaddiwa era ne tufa? Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share