Kiki ky’Onookola mu Biseera eby’Ennaku Enkulu?
Kiba kirungi okugenda okubuulira mu biseera eby’ennaku enkulu ez’eddiini n’eza gavumenti, kubanga abantu bangi babeerawo awaka. Ebibiina bikubirizibwa okukola enteekateeka ey’enjawulo ey’okubuulira mu biseera eby’ennaku enkulu. Bwe kiba nti mu nnaku ezo, abantu bangi mu kitundu kye tubuuliramu balwawo okuzuukuka, kiba kirungi okukola enkyukyuka mu biseera eby’olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Ekirango kiyinza okusomebwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza okutegeeza ekibiina ku nteekateeka yonna ey’enjawulo eba ekoleddwa okubuulira mu biseera eby’ennaku enkulu n’okukubiriza bonna abasobola okuwagira enteekateeka eyo. Kyo kituufu nti mu nnaku enkulu tufuna akakisa okuwummulako n’okukola ebintu ebirala. Naye kiba kirungi okukozesa ebimu ku biseera byaffe okugenda okubuulira. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kufuna essanyu eriva mu kuweereza Yakuwa.—Mat. 11:29, 30.