Okuyigiriza Obulungi Abayizi ba Bayibuli
1. Tusaanidde kuba na kiruubirirwa ki nga tuyigiriza abantu Bayibuli?
1 Tewali muntu ayinza kuweereza Katonda, okuggyako nga Katonda “y’amusise.” (Yok. 6:44) Wadde kiri kityo, ababuulizi bwe baba bayigiriza abantu Bayibuli basaanidde okubayamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaabwe ow’omu ggulu. (Yak. 4:8) Ekyo kyetaagisa okuteekateeka obulungi. Okusoma obutundu n’okubuuza ebibuuzo si kye kyokka kye tulina okukola okusobola okuyamba abayizi baffe okutegeera amazima n’okukulaakulana.
2. Okuyigiriza obulungi omuyizi wa Bayibuli kizingiramu ki?
2 Okusobola okuyigiriza obulungi abayizi, ababuulizi basaanidde okubayamba (1) okutegeera Bayibuli by’eyigiriza, (2) okukkiriza Bayibuli by’eyigiriza, ne (3) okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza. (Yok. 3:16; 17:3; Yak. 2:26) Kiyinza okutwala emyezi egiwera okusobola okuyamba omuntu mu ngeri eyo. Kyokka buli kimu ku bintu ebyo kimuyamba okukulaakulana, n’atuuka n’okwewaayo eri Yakuwa.
3. Lwaki omusomesa omulungi abuuza ebibuuzo ebireetera omuyizi okuwa endowooza ye?
3 Omuyizi Alina Ndowooza Ki?: Okusobola okumanya obanga omuyizi wa Bayibuli ategeera era akkiriza ebyo by’ayiga, weewale okwogera ennyo wabula mukubirize okuwa endowooza ye. (Yak. 1:19) Ategedde ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga gye mwogerako? Asobola okunnyonnyola ensonga eyo mu bigambo bye? Ebyo by’ayiga abitwala atya? Akkiriza nti ebyo Bayibuli by’eyigiriza bituufu? (1 Bas. 2:13) Akimanyi nti alina okukolera ku ebyo by’ayiga? (Bak. 3:10) Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo, tusaanidde okubuuza omuyizi ebibuuzo ebimuleetera okuwa endowooza ye, era ne tumuwuliriza bulungi.—Mat. 16:13-16.
4. Singa omuyizi alemererwa okutegeera oba okukolera ku ekyo kye tuba tumuyigiriza, kiki kye tusaanidde okukola?
4 Kitwala ekiseera okusiguukulula endowooza enkyamu n’emize emibi. (2 Kol. 10:5) Watya singa omuyizi wo takkiriza ebyo by’omuyigiriza oba tabikolerako? Twetaaga okuba abagumiikiriza kubanga kiyinza okutwala ekiseera Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe omutukuvu okukyusa omutima gw’omuyizi. (1 Kol. 3:6, 7; Beb. 4:12) Omuyizi bw’aba alemereddwa okutegeera oba okukolera ku nsonga gy’oba omuyigiriza, mu kifo ky’okumukaka kiba kirungi n’ogenda ku nsonga endala. Bwe weeyongera okuba omugumiikiriza ng’omusomesa, ayinza okutandika okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.