Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 22
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 22
Oluyimba 15 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 17 ¶17-23, akas. ku lup. 177 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yoswa 9-11 (Ddak. 10)
Na. 1: Yoswa 9:16-27 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Obwakabaka bwa Katonda Kye Bujja Okukolera Abantu—td 20A (Ddak. 5)
Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Butandika Okufuga ng’Abalabe ba Kristo Bakyaliwo—td 20B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: Yogera ku ‘bintu ebirungi’ ebiri mu tterekero lyaffe eddungi.—Mat. 12:35a.
Ddak. 5: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 25: “Essomero ly’Omulimu gwa Katonda Erya 2015 Lijja Kutuyamba Okulongoosa mu Ngeri Gye Tuyigirizaamu.” Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Omulabirizi w’essomero ayinza okusalawo obutundu obumu busooke busomebwe nga tebunnakubaganyizibwako birowoozo. Ggumiza enkyukakyuka ezikoleddwa mu mboozi 1, ebiseera eby’okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Bayibuli, n’obulagirizi obukwata ku kuwabula obuweereddwa omulabirizi w’essomero. Akatundu 7 kasaanidde okusomebwa era oluvannyuma lw’okukakubaganyaako ebirowoozo, laga ekyokulabirako ng’omukadde akubiriza okusinza kw’amaka ng’ali ne mukyala we awamu n’omwana waabwe ng’akozesa ebyo ebiri ku lupapula 18 olwa New World Translation eya 2013. Kubiriza bonna okukola kyonna ekisoboka okuganyulwa mu bujjuvu mu kutendekebwa kwe tufuna mu ssomero lino, n’okufuba okukozesa ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
Oluyimba 117 n’Okusaba