Tetusaanidde Kulwawo
Olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira bwe luggwa tuba twagala okunyumyako ne baganda baffe ne bannyinaffe. Wadde kiri kityo, tusaanidde okugenderawo mu kitundu kye tuba tugenda okubuuliramu. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gulina okukolebwa mu bwangu. (2 Tim. 4:2) Kyokka gye tukoma okulwawo, gye tukoma okufiirwa ebiseera eby’okubuulira. Bwe tuba tutandise okubuulira, tufuna akakisa okunyumyako ne mubuulizi munnaffe n’okuziŋŋanamu amaanyi. Bwe tutalwawo kutandika kubuulira, tuba tulaga nti tuli banyiikivu mu kuweereza Yakuwa n’Omwana we.—Bar. 12:11.