OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutuuka ku Mutima gw’Omuyizi nga Tukozesa Akatabo ‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda’
LWAKI KIKULU: Omuntu okusobola okusinza Katonda mu ngeri entuufu, alina okutegeera emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu era n’agigoberera. (Is 2:3, 4) Akatabo ‘Kwagala kwa Katonda’ kayamba abayizi ba Bayibuli okutegeera engeri gye bayinza okukolera ku misingi gya Bayibuli. (Beb 5:14) Bwe tuba tubayigiriza, tusaanidde okufuba okutuuka ku mitima gyabwe kibaleetere okwagala okukolera ku ebyo bye bayiga.—Bar 6:17.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Weeteeketeeke bulungi era olowooze ku muyizi wo. Lowooza ku bibuuzo by’onoomubuuza, kikusobozese okumanya ky’alowooza ku nsonga gye muliko.—Nge 20:5; be 259
Kozesa obusanduuko obuli mu katabo ako okuyamba omuyizi okulaba emiganyulo egiri mu kukolera ku misingi gya Bayibuli
Yamba omuyizi okutegeera emisingi gy’ayinza okukozesa ng’asalawo ku nsonga ezitali zimu, naye tomusalirawo.—Bag 6:5
Fuba okumanya obanga omuyizi yeetaaga obuyambi okukolera ku misingi gya Bayibuli egimu. Bw’oba omukubiriza okukola enkyukakyuka, tomukaka wabula muleke yeesalirewo ng’asinziira ku kwagala kw’alina eri Yakuwa.—Nge 27:11; Yok 14:31