EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 1-5
“Mujje Twambuke ku Lusozi lwa Yakuwa”
| “Mu nnaku ezisembayo” | Nga kye kiseera kye tulimu kati | 
| “Olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa” | Nga kuno kwe kusinza okw’amazima | 
| “Amawanga gonna galyekuluumululira okwo” | Abo abaagala okusinza okw’amazima bakuŋŋaanyizibwa era bali bumu | 
| “Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa” | Abasinza Yakuwa bayita abantu abalala babeegatteko | 
| “Anaatuyigiriza amakubo ge, era tunaatambulira mu mpenda ze” | Yakuwa atuyigiriza ng’akozesa Ekigambo kye, era atuyamba okutambulira mu makubo ge | 
| “Tebaliyiga kulwana nate” | Isaaya yagamba nti eby’okulwanyisa birikolebwamu ebintu ebikozesebwa mu nnimiro, ekiraga nti abantu ba Yakuwa bandikoze ebintu ebireetawo emirembe. Biki ebyakozesebwanga mu nnimiro mu kiseera kya Isaaya? | 
| “Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi” | 1 Enkumbi ezoogerwako wano zeezo ezaasikibwanga ente, era ezimu zaabanga za byuma.—1Sa 13:20 | 
| “Amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo” | 2 Ebiwabyo byakozesebwanga kusalira mizabbibu.—Is 18:5 |